Yongera ku mutindo gw’entuntunu busuubuzi z’olima ng’ozikolamu jjaamu

By Musasi Wa

SSENTE bw’ebuze ky’ekiseera obuli muntu aliko ky’akola okwongera ku mutindo gw’ekyo ky’akola asobola okufuna amagoba agasinga ku galina.

2012 5largeimg223 may 2012 101221280 350x210

Bya DICKSON KULUMBA

SSENTE bw’ebuze ky’ekiseera obuli muntu aliko ky’akola okwongera ku mutindo gw’ekyo ky’akola asobola okufuna amagoba
agasinga ku galina.

Abalimi bangi bakaaba okunyunyuntibwa abaguzi kyokka nga basobola okukulaakulanya enfuna yaabwe nga bayita mu kulinnyisa omutindo gw’ebirime byabwe.

Vicent Ssekajja, owa Bugobango Ltd esangibwa ku ssomero ly’eby’emmere ku yunivasite e Makerere, ayigiriza omulimi w’entuntunu bw’osobola okuzikolamu jaamu n’omubisi wadde nga
zivaamu ne wayini.

Engeri y’okukolamu omubisi okuva mu ntuntunu
1. Susa entuntunu, olondemu ento n’envundu osigaze ezengedde zokka.

2. Zooze bulungi okwewala okukamula omubisi ogulumira.

3. Ziteke mu kuuma ozikube zigonde. Bw’oba tolina kuuma, zinyige n’ekintu kyonna ekisobola okugonza.

4. Ziteekemu amazzi ag’ekigero oluvannyuma osengejje okuggyamu omubisi gwokka.

5. Bw’oyagala gattamu omubisi okuva mu bibala ebirala ng’emicungwa, obutunda, emiyembe, mangada, n’ebirala.

Engeri gy’okola jjaamu mu ntuntunu

1. Susa entuntunu olondemu ento n’envundu olekemu ennamu ate nga zengedde.

2. Zooze zitukule okuggyamu ettaka n’obusaaniiko.

3. Ziteeke mu kuuma ozikube zigonde nnyo.

4. Ttulula omubisi oguvaamu nga totaddeemu mazzi ogusse mu ssefuliya.

5. Gatta ssukaali mu mubisi n’ekirungo ekyeyambisibwa okukwasa jjaamu (pectin). Tabula gwete bulungi obutasigalamu bitole.

6. Fumba nga bw’otabulamu omubisi obutasiriira okutuusa lwe gutokota.

7. Guleke gutokote okumala eddakiika 15.

8. Teeka jjaamu mu ccupa ey’ekyuuma ng’akyayokya.

Entuntunu osobola okuzeerimira oba okuzisuubula ku bazirima mu bungi.

Yongera ku mutindo gw’entuntunu busuubuzi z’olima ng’ozikolamu jjaamu