Amakubo 6 mw’onooyita okwongera ku nnyingiza yo

By Musasi Wa

EMBEERA w’etuuse yeetaaga muntu mukozi ate nga muyiiya nnyo okugiyitamu. Abalina omulimu ogumu tegukyamala kuba ne ssente zibuze ate ng’ebintu byonna birinnye ebbeeyi.

2012 6largeimg227 jun 2012 104512490 350x210

Bya Musasi waffe

EMBEERA w’etuuse yeetaaga muntu mukozi ate nga muyiiya nnyo okugiyitamu. Abalina omulimu ogumu tegukyamala kuba ne ssente zibuze ate ng’ebintu byonna birinnye ebbeeyi.

Dinana Muwalu, omutuuze w’e Luzira avuga takisi wabula agamba nti ssente z’afuna tezikyamala. Bwe yakizuula oluvannyuma lw’okuwuliriza pulogulaamu “Ensi  kuyiiya’ ku Bukedde Fa Ma yatandika okuyiiya. Annyonnyola bwe yatandika.

“Bwe nnawuliriza leediyo ya Bukedde ne nzibuka amaaso ne ntandika okuyiiya ekirala eky’okukola ng’oggyeeko okuvuga takisi.

Nnatuukirira mukwano gwange omu e Butabika alina ettaka ne mmusaba ampeeyo we nsobola okulimira kye yakkiriza n’ampa yiika ssatu.

Kye nnasooka okukola kwe kulimirako ennyaanya kuba waali wagimu. 

Bwe nnazikungudde ne nzizaamu ebinyeebwa ne muwogo, gwe mbaliriramu obukadde obusoba mu bubiri singa nnaamukungula.

Bwe ngaba takisi yange mu kifo ky’okuzannya zzaala ng’enda mu nnimiro nga nnima kuba ndaba kye kijja okunzibulula. Kampala we yatuuka yeetaaga muntu nga mukozi ate muyiiya”, Muwalu bw’agamba.

Abantu bangi bafuna ensimbi mu mirimu gyabwe kyokka nga tezikyasobola kumala byetaago byabwe. Anoonya engeri endala z’osobola okuyitamu okwongera ku nnyingiza yo weekwate bino.

Amakubo 6 mw’onooyita okwongera ku nnyingiza yo