Abasuubuzi b'ennyaanya mu Kampala bakyevuma lutalo lw'e South Sudan

By Benadino Kate

ABASUUBUZI b’ennyaanya mu butale obutali bumu mu Kampala beeraliikirivu olw’ekidibo kyazo ekigenda mu maaso mu kiseera kino mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.

Mate1 350x210

ABASUUBUZI b’ennyaanya mu butale obutali bumu mu Kampala beeraliikirivu olw’ekidibo kyazo ekigenda mu maaso mu kiseera kino  mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.

Abasuubuzi bagamba nti, mu biseera bwe biti emyaka egiyise, ennyaanya zibadde ku katale kuba zibadde ntono olw’omusana ate ng’abalimi batono abasobola okufukirira.

 basuubuzi bennyaanya nga beemulugunya Abasuubuzi b'ennyaanya nga beemulugunya

 

Christine Nanziri, omusuubuzi w’ennyaanya ku Kaleerwe agamba nti, olutalo lw’e Sudan lwe lusinze okuleeta obuzibu kuba abalimi tebakyasobola kuyingizaayo nnyaanya.

Pulayi y’ennyaanya entono kati egula wakati wa 30,000/- ne 40,000/- ate ennene eri wakati wa 60,000/- ne 70,000/-.

 

Emabegako ennyaanya zibadde zitundibwa bbiri ku 500/- wabula kati zisukka ne mu mukaaga nga nnene, ate entono  zisoba mu 10.

“Tetumanyi kidibo kino gye kinaatukomya kuba tuyingidde ebiseera by’enkuba ng’abantu bagenda kwongera kulima ate ne Sudan tennatereera” Abasuubuzi bwe bagamba.