Ab’oku Kaleerwe balinnyisizza omutindo gw’enkoko ze basala

By Musasi wa Bukedde

Abatunda enkoko ensale ku Kaleerwe balinnyisizza omutindo mu kugezaako okukuuma obuyonjo n’okugoba endwadde eziva ku bujama ate nga bwe basikiriza n’abaguzi.

Kaleerwelufulause 350x210

Bya Ivan Sserwadda        

Abatunda n’okusala enkoko ku Kaleerwe enkoko kati bazisalira mu lufula gye bayise Superior Poultry Cuts essiddwaako amateeka amakakali ku bagikozesa okulaba nga bakuuma omutindo ennyingiza yaabwe esobole okulinnya.

Omu ku bakulira lufula eno, Dennis Kibuuka yategeezezza nti buli bizinensi okuvuganya, erina okussibwa ku ddaala erisikiriza abantu okugyeyunira. Era bwe baalaba ng’omulimu gw’enkoko gulimu ssente ate abantu bangi bagwenyigiddemu era bafunamu ssente ezibayimirizaawo kwe kusalawo okukola lufula baawukaneko n’ebifo ebirala ebitunda enkoko abatalina kifo kya nkalakkalira we bazisalira.

Enkuuma y’obuyonjo

Kibuuka yagambye nti, ensonga y’obuyonjo baagiteera ddala ku mwanjo olw’ensonga nti abakulembeze mu katale ne mu kitundu kye basing okusimbako essira ate nga tuweereza abantu bangi abayinza okufuna obuzibu ssinga tetukuuma mutindo.

“Tukozesa sabbuuni okulongoosa ebikozesebwa ne we tukolera ssaako okwera okulaba nga tugoba endwadde mu kifo kyonna”, Kibuuka bwe yategeezezza.

Enkuuma y’enkoko ezisaliddwa

Enkoko ezisaliddwa nga tezinnagulwa tuzikuumira mu firiigi ennyogoza okuzikuuma nga tezoonoonese, era mwe tuteeka ne sosegi ze tukola mu nkoko.

Tweyambisa Hajji Hamis Kisekka okusala enkoko okusobola okukuuma bakasitoma baffe bonna nga tebeesittala era kati tufuna abantu bassekinnoomu n’ab’ebirabo by’emmere.

Okusoomoozebwa kwe basanze

Ebiseera ebimu enkoko zibula ne tusuubula ntono ate nga bakasitoma bajja mu bungi.

Olumu abaguzi bajja batono ate nga tulina enkoko nnyingi.

Amasannyalaze olumu gavaako ng’ate tulina enkoko ezisaliddwa ekitufiiriza.

Bbeeyi y’enkoko

Enkoko zitundibwa okusinziira ku buzito bwazo nga batandikira ku 10,000/-.