Balumiriza Ssentebe wa Goma Division okulemesa enkulaakulana ya katale kaabwe

By Musasi wa Bukedde

Balumiriza Ssentebe wa Goma Division okulemesa enkulaakulana ya katale kaabwe

Akatalekanewgomafarmersmarketngawekafanana1useforweb 350x210

 

Bya TONNY KAYEMBA

ABASUUBUZI abakolera  mu katale ka New  Goma Farmer’s  Market e  Goma  mu divizoni y’e  Goma  mu Distulikiti y’e

Mukono  balumirizza  abakulembeze  mu divizoni eno okuvaako

emivuyo mu katale kaabwe.

Bano nga  bakulembeddwa ssentebe w’akatale kaabwe Ibrahim Katongole balumiriza, Erisa Mukasa Nkoyoyo ssentebe wa LC3 Goma Division, okubeera mu lukwe lw’okwagala okweddiza  akatale kaabwe ke beetandikira ekivuddeko entalo mu katale n’okukalemesa okukula nga mu myaka ena gye baakamala akatale tekalina kye keeyongerako.

Akatale katudde ku yiika bbiri ng’ettaka lino lyabaweebwa ObwaKabaka bwa Buganda mu 2014.

Bagamba nti baagala baddizibweyo akatono kuba nabo babasoloozaamu omusolo.

Ssentebe Nkoyoyo ku nsonga eno yagambye nti, akatale kano baakatandikawo ne Katongole nga yamulonda Kireka nga talina mulimu wabula olwamala okuzimbawo emidaala n’amaduuka Katongole n’amwefuulira n’amugoba mu katale nga bali wamu n’abasuubuzi era ensonga z’akatale n’azeesonyiwa.

Yayongeddeko nti,  ensonga z’akatale kano ng’abatwala Goma Division bazikolako okulaba nga bakwatagana n’abasuubuzi basobole okukakulaakulanya okumalawo enkaayana n’abasuubuzi kye bagamba nti Divisoni eremesezza enkulaakulana y’akatale kano kyokka ate nga kaliraanye ekitebe kya Divisoni y’e Goma.