Nkozesa buyiiya okufuna mu kutimba emikolo

By Musasi wa Bukedde

Okuzaala kwannemesa saluuni ne nzira mu kutimba mwe nfunye ensimbi.

Naomingatimbakumukoloogumuweb 350x210

Bya Prossy Nababinge

Obuyiiya n’obutetenkanya bye bimu ku bintu bye batasomesa mu ssomero. Abakyala abamu balowooleza mu kuweebwa naddala abafumbo ekireeta embeera ey’obunkeke mu maka naddala ssinga omusajja alemererwa okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe.

 Kino Nnaalongo Naomi Nannyanzi 35, omutuuze w'e Kasaganti yakisalira amagezi era amaanyi ge yasalawo kugateeka mu kutimba ku mikolo nga mu kiseera kino alina ne kkampuni ye erina obukugu mu mulimu guno. Ono emboozi ye aginyumya bwati:

Natandikira mu saluuni

Okuva nga nkyali ku yunivasite, nayagala nnyo okukola era ng’eby’okulabirirwa saabimanyiira. Bwentyo nneegatta ku mulamu wange omu eyanjigiriza okusiba enviiri. Omulimu guno nagutwalira ddala mu maaso okutuuka lwe nafuna olubuto nga sisobola kusigala nga nkola olw’ensonga nti okusiba enviiri kwetaagisa amaanyi mangi olwo ne nsigala awaka ekyampa obuzibu.

Mu 2015, twagattibwa ne baze Joel Pimundu. Omukyala eyakola ku by’okutimba, yakola bulungi ne mmatira era wano we naggya ekirowoozo ky’okutandika okutimba ku mikolo.

Ng’embaga ewedde, nneekwata omukyala ono era n’ampabula ku kye nnina okukola bwe mbeera nga njagala omulimu guno.

 nannyanzi ngannyonnyola bwe yatandika bizinensi yokutimba ku mikolo mu ofiisi ye Nannyanzi ng'annyonnyola bwe yatandika bizinensi y'okutimba ku mikolo mu ofiisi ye

 

Natandika n’obukadde busatu

Olw’okwagala kwe nalina n’okwegomba okukolera abantu abalala ekintu ekirungi, baze yampa obukadde 3. Zino nazeeyambisa okusasulako ekifo n’okugula eby’okutimbisa ng’engoye.

Entandikwa teyali nnyangu era nga ssente zino tezammala kugula byonna bye nnali nneetaaga wabula olw’okuba omutetenkanya, ebintu ebirala nasalawo okubipangisa okutuusa lwe nagula ebyange.

Bino nabipangisanga mu ssente bakasitoma bange ze baasasulangako ng’ez’okunneekwata era ku ntandikwa saafanga nyo ku kya magoba.

Wadde ng’omulimu guno saagusomerera, obuyiiya bwange buntunze nga mu kiseera kino nnina bakasitoma abawera nga n’abamu simanya gye bava olw’ensonga nti bannaabwe be babansindikira oluvannyuma lw’okubakolera.  Mu bbanga lya myaka ebiri, bizinensi yange egaziye

Obukodyo bwe nkozesa

l Okutimba ku mukolo gw’embaga kutandikira ku 1,000,000/- n’okudda waggulu so ng’emikolo emirala nsobola okutimbira wakati wa 500,000 ne 800,000/-.

l Kyokka olw’okuba nti omulimu guno saagusomerera, ebiseera byange ebisinga mbimala ku yintaneeti nga noonyereza ku misono emipya n’engeri gye nsobola okugattako omutindo nsigale nga nvuganya ku katale.

l Nakimanya ng’okukuuma bakasitoma, nnina okubakwata obulungi era ng’eno mpagi nkulu mu bizinensi era gye nkulembeza bulijjo.

Bye nfunye 

Omulimu gw’okutimba guno gumpadde obudde bwa famire yange kubanga si gwa buli lunaku era ng’omukyala omufumbo, sikyalinda ssente za ku kameeza olw’ensonga nti nange nyingiza ng’obuntu obutono nsobola okubwetusaako.