Engeri gy'okozesa ebikwetoolodde okubumba essigiri

By Scovia Babirye

Ennaku zino abantu bangi bagamba nti, baagala okukola naye tebalina kapito gwe batandisa mirimu kyokka nga bw’otunuulira ebibeetoolodde yenna kapito gw’otosobola kumalawo.

Sigiri2web2usetrue 350x210

Ennaku zino abantu bangi bagamba nti, baagala okukola naye tebalina kapito gwe batandisa mirimu kyokka nga bw’otunuulira ebibeetoolodde yenna kapito gw’otosobola kumalawo.

Emirimu mingi gye tubuusa amaaso kyokka nga gyetaaga kuyiiya oba kukozesa bwongo na mikono okusobola okugikola n’ofuna ssente nga bwe guli ku ssigiri z’ebbumba.

Sarah Namubiru, akolera mu kirombe ky’e Zzana - Kyeyagalire annyonnyola bw’akola ssente mu ssigiri z’abumba.

“Bwe tuba tugenda okubumba essigiri, tusooka kusima bbumba mu kidiba ne tulikung’aanyiza awantu ne tulitabula ng’abasamba obudongo okutuusa lwe liggya. Tukozesa ekintu kye tuyita kikooko mwe tuliteeka ne tufuna omutayimbwa gwe tukozesa okwongera okulikuba ne liggya bulungi okusobola okulifunamu essigiri ennungi.

Bwe liggya tuliteeka mu sitoowa mwe tuliggya okulikozesa wabula wano libikkibwako ebiveera obutakalambala lisigale nga ligonda.

Funa olubaawo olutereevu, amazzi g’ogenda okukwatamu ng’obumba n’enfuufu eva ku bbulooka enjokye, obuti obwegolodde obulungi obitegeke lumu obeere nga toyimukayimuka.

Bw’omala okutegeka by’ogenda okukozesa ne ku lubaawo yiwako enfuufu eziyiza ebbumba okukwatirako ng’obumba, wamu n’okukola entobo.

Mu kubumba osinga kukozesa maaso, obwongo n’engalo zo era bw’omala okuyiwawo enfuufu ng’otandika ssigiri yo naye ebbumba ly’okwata mu ngalo lisinziira ku bunene bwa ssigiri gy’oyagala.

Engalo zo ke katiba ka ssigiri gy’ogenda okukola era n’ebbumba okwata lingi okusinziira ku bunene bw’oyagala ng’oliteekako nga bwe weetoolooza.

Bw’omaliriza okukola entobo n’ebisenge ofuna akati ke wategese nga keegolodde bulungi n’okateekako ebbumba kuba ke kakuyamba okukola emigoma esatu egibeera mu makkati ga ssigiri nga gyenkanankana.

Bw’ogimaliriza nga tolina w’olese kituli kyonna ng’ogyanika mu budde obw’ekiddedde kuba omusana omungi gugyasa. Wakati w’essaawa nnya bwe wabaawo empewo ey’omusana ebeera emaze okuguma, naye bwe kitabeera bwe kityo ogireka olunaku lulamba n’olyoka ogijjuzaako ekyoto.

 arah amubiru ngabumba essigiri Sarah Namubiru ng'abumba essigiri

 

Okukola ekyoto

Bw’eguma ng’oyongerako ekyoto era okozesa maaso na ngalo zo n’oteekako ebbumba nga weetoolooza okutuusa lw’oteekako obusiga obusatu olwo era nga tekuli kituli kyonna awo ng’essigiri ennamba ewedde ng’ogitwala kugyanika mu budde obwekiddedde kuba omusana omungi gugireeta ennyaafa.

Bw’eguma, ekiddako kubeera kugitwala ew’oyo agimaliriza obulungi nga Zziwa Kyambadde bw’annyonnyola;

Okumaliriza essigiri

Essigiri bw’ogikwatako nga tekaluba ate nga tegonda wabula nga ya kigero awo ebeera etuuse okugimaliriza. Tegeka amazzi, akambe, akabaawo ke tuyita bbaawolayini (kano ggwe okebajjira) nga katereevu bulungi n’enkokoso gye weesalira mu kidomola n’ofuna n’olubaawo olutereevu obulungi kw’osoosa enfuufu.

Bw’omaliriza, funa akambe ko okolokoteko ebbumba eryayiseeko naddala wansi, ekyo nga kiwedde funa bbaawolayini yo ogikubeekubeko okumalamu ebinnyannya.

Mansirako amazzi okozese enkokoso yo otandike okuwalakata ssigiri yonna okugiwa olususu olulungi n’okugirabisa obulungi.

Bw’omaliriza giteekeko mu kasana okumala eddakiika nga ssatu esobole okuggwaako amazzi era bwe gaggwaako, ddamu okozese akambe oteekemu ebituli okuli eky’oluggi n’amadirisa asatu. Akaggi okasala mu ngeri ya bookisi ate amadirisa mu ya sumbuusa awo ng’ogizzaawo okugyanika.

Okwokya ssigiri mu ttanuulu

Namubiru agamba nti, essigiri bwe babeera bamaze okugiyooyoota ebeera yeetaaga n’ogiwa wiiki nnamba ng’ekala naye nga si mu musana kuba omusana gugyasa.

Bw’ekala, ogiteeka mu ttanuulu yo mw’ozookera era mu ttanuulu oteekamu ssigiri nga 150 oba okusinziira ku bunene bwayo. Wano kikwetaagisa okubeera n’enku nnyingi ezisobola okuggyiisa essigiri obulungi.

Mu kukumamu omuliro osooka kussaamu omuliro mutono ddala oba osobola mukka gwokka ssigiri zisooke zimanyiire omuliro kuba bw’otandika n’omungi zibaluka ne zaatika.

Bwe zimanyiira olina okuteekamu omuliro oguwera nga gutuuka waggulu wa ttanuulu ne zisobola okuggya obulungi era ozifumbira wakati w’essaawa mukaaga ne musanvu awo ngozirinda kuwola.

Bwe ziwola, awo nga tusibako obuwaya kungulu bwetujja mu mipiira gy’emmotoka obutayatika mangu olwo nga tugitunda. Sayizi entono esookerwako nga tekuli buwaya ebeera ku 800/-, ate  bwe kubeerako tumuweera ku 1,300/- ate n’agula akamu tumuweera ku 1,500/-.

Ku sayizi ey’omu makkati, omusuubuzi tumuweera ku 4,000/- ate atwala emu wa 8,000/-. Sayizi ennene ddala omusuubuzi tumuweera ku 5,000/- ate atwala emu ne tumuweera ku 12,000/-.

Ebiseera ebisinga essigiri ennyingi tuzikola ozeekutte, naye mu biseera by’oluwummula abaana batugulako nga bwe batambuza naye ng’abasuubuzi abasinga bava katwe.