Bano kasasiro bamukolamu ennimiro ne peeva ne banoga ssente

By Musasi wa Bukedde

Abavubuka b'omu Ghetto e Kamwokya kasasiro naddala obuveera bamukolamu peeva n'ennimiro ne bafuna ssente

Getto5webuse 350x210

Bya Emmanuel Ssekaggo

ABANTU abamu bwe babaako ebintu bye bakozesa mu maka gaabwe ne bikaddiwa basuula bisuule nga balowooza nti tebikyalina mugaso.

Mu bimu kau bintu bye basuula mwe muli ensawo, ebbaafu, ebibbo, obukutiya, engoye eza jjiini n’ebirala.

 bavubuka nga balaga peeva ze bakola mu buveera Abavubuka nga balaga peeva ze bakola mu buveera

 

Abalina endowooza eno balina okumanya nti nkyamu kubanga ebintu bino nga bikaddiye ate bisobola okukola emirimu emirala egivaamu ensimbi.

Egimu ku mirimu gino mwe muli okubiteekamu  ettaka n’olimirako ebimera eby’enjawulo ebivaamu ensimbi omuli: ennyaanya, obutungulu, nnakati, ebbugga, n’ebirala era ng’omuntu abirimye asobola bulungi okunoga ensimbi ezimuyamba okweyimirizaawo.

 nnimiro abavubuka ze bakola mu bintu ebisuulibwa nga kasasiro Ennimiro abavubuka ze bakola mu bintu ebisuulibwa nga kasasiro

 

Abavubuka b’e Kamwokya abeegattira mu kibiina ekya Getto Research Lab nga bano banoonya ebintu ebikaddiye ne babikozesa ate okufunamu ebintu eby’enjawulo ebibayamba okufunamu ensimbi.

Abavubuka be bamu bakola n’omulimu ogw’okukung’aanya obucupa bw’amazzi obusuuliddwa abantu okusobola okubuggya mu kitundu kyabwe nga babupakiramu obuveera ne bukaluba nga bbulooka era nga baabweyambisa n’okubuzimbisa kaabuyonjo mu kitundu ekyayambako okutumbula ebyobulamu mu kitundu.

 bavubuka nga balaga obumyu bwe balunda nga babuliisiza nokunywa mu bicupa ebisuulibwa kukasasiro Abavubuka nga balaga obumyu bwe balunda nga babuliisiza n'okunywa mu bicupa ebisuulibwa kukasasiro

 

Mu buveera bakolamu ne peeve.

Patrick Mujuzi, akulira ekibiina kya Getto Research Lab agamba nti, abantu bangi batudde ku bugagga bwe batamanyi.