Oketch obwavu abugobye na kukola fulasika mu mbaawo

By Musasi wa Bukedde

Mu kukola fulasika z'embaawo mwe nfuna ssente

Oketchinstructinghisstudentswebuse 350x210

Bya Stella Naigino

Toli mwavu, mutwe gwo gwe mwavu. Kino, Quinto Oketch 60,  yakikwata era kimuyambye okwegobako obwavu.

Oketch musomesa wa byamikono ku Lugogo Vocational Institute, era agamba nti omulimu gwe gumufunyisizza ebirungi bingi kuba buli kiseera abeera ayiiya ekipya ky’anafunamu ssente.

Yatandika na kukola bitanda na ntebe kati akola fulasika mu mbawo era nga zino azinogamu ensimbi.

Akikola atya?

Oketch agamba nti, nga tannatandika, asooka kugula bintu bye yeetaaga nga; emisumaali, embaawo, omusumeeni, gaamu n’ebirala.

Asalasala embaawo okusinziira ku bipimo by’aba akoze era bw’amala n’atandika okubigatta okukola fulasika.

 ulasika eziwedde okukola Fulasika eziwedde okukola.

 

Asooka kukola kitundu eky’ebweru oluvannyuma n’akola eky’omunda awatuula ssefuliya essibwamu ebyokulya nga wakati waabyo assaawo ppamba ayamba okukwata ebbugumu.

Akolerako ekisaanikira nga kino akiteekamua kabaati.

Agisiiga langi ng’amalirizza okugirabisa obulungi nga tannagitunda era bw’amala okugisiiga, agiteeka ku mudaala w’atundira.

Enkola yaayo

Oketch agamba nti, nga fulasika endala zonna bwe zikola ne fulasika y’embaawo bw’ekola, ekuuma emmere yonna ng’eyokya oba ng’ewoze.

Osooka kugiyonja ng’ogenda okugikozesa  olwo n’oteeka emmere mu ssefuluya n’ogituuzaamu era n’osaanikirako.

By’afunyeemu

  1. Essanyu buli lw’amaliriza omulimu gw’akoze nga mulungi.
  2. Ssente n’emikwano.
  3. Ayongedde okukuguka mu by’akola nga kati abantu abasinga bamwebuuzaako.