Nnaalongo Muwanguzi alima nnyaanya mu bidomola n'ayingiza ssente

By Musasi wa Bukedde

Okuyiiya y’ensibuko y’okugoba obwavu nga n’oluggya osobola okuluyoolamu omudidi

Toomwebuse 350x210

Bya Stella Naigino

Abantu bakaaba obwavu naye nga basobola okukolera awaka ne bafuna ssente ne bagoba obwavu.

Moses Sabika, omulunzi era omulimi agamba nti engeri omuntu gy’asobola okwegobako obwavu, alina kulimira waka era ye alimirawo nnyaanya.

Agamba nti, omuntu ky’alina okukola kufuna nsigo za kika ky’ennyanya ekirungi n’asimba mu beedi era mu wiiki ssatu, abeera atandika okusimbuliza ng’asimba mu nnimiro ye awaka.

Olumaliriza okusimba abeera asigazizza kufukirira na kufuuyira ate nga kino tekiba kyabuli kiseera.

 kufuuyira ennyaanya kikulu ngoyagala okufunamu Okufuuyira ennyaanya kikulu ng'oyagala okufunamu

 

Oteekateeka ennyaanya zo kwe zinaalandira zisobole okuvaamu obulungi era ggwe azirimye osobole okufunamu.

Nnaalongo Zaina Muwanguzi, agamba nti omuntu alimira awaka teyejjusa era afuna nga bw’akekkereza ssente.

Kino kimuyamba okutereka ssente ze yandikozesezza okugula ennyaanya n’azikolamu ebirala.

Muwanguzi ennyaanya azirimira mu bidomola wabula agamba nti, okuva lwe yatandika teyejjusa era ng’afuna.

mulimi ngakebera ku nnyaanya zeOmulimi ng'akebera ku nnyaanya ze

 

Agamba nti, akatale k’ennyaanya weekali kanene era tekaggwaawo. Gy’akoma okunoga gye zikoma okweyongera.

Awabula abalimi nti, kikulu okusimba awantu awagimu era okufaayo okulabirira ekyo ky’osimbye olwo bw’otuuka okukungula, tewejjusa.