Obusomesa bw'ennoni bwannema ne nkola obw'okulima n'okulunda

By Musasi wa Bukedde

Kalyango yalemwa okusomesa mukibiina ssente azinoonyeza mu bulimi na bulunzi

Kalyango2webuse 350x210

Bya Stella Naigino

Leero bw’osanga Hassan Kalyango n’omuyita musomesa, akugamba nti musomesa wa kulunda na kulima kubanga ye okuva lwe yamaliriza okusoma, talinnyangako mu kibiina kusomesa baana wabula ye yafuuka mulunzi ate omulimi.

Kalyango yasoma busomesa naye olw’embeera gye yali ayitamu, yasoma nga bw’asuubula obuwunga bwa kasooli era nga muno mwe yafunanga ebisale by’essomero.

Bwe yamaliriza okusoma, n’afuna omuntu eyamuyigiriza okutabula emmere y’enkoko n’ebisolo era bwe yayiga, yasalawo n’ava mu kusuubula obuwunga bwa kasooli, n’agenda asoma okutabula emmere y’ebisolo era bwe yakuguka mu bino, kati mw’aggya omugaati.

 mu kubakozi ba alyango ngali we batabulira emmere yensolo Omu kubakozi ba Kalyango ng'ali we batabulira emmere y'ensolo

 

Entandikwa

Kalyango agamba nti, bwe yakyusa bizinensi bakasitoma be abamu baayomba naye abalala ne bamusanyukirako naddala abaali balunda.

Yasooka kugula bbulandi w’enkoko era nga kuno yagendanga ayongerako ebirungo ebirala bakasitoma be bye baali baagala.

Yakimanya nti, abantu abasinga baagala okulunda n’okulima naye olw’emmere embi eri ku katale abasinga babivaako.

“Awo nayiiya engeri y’okubaagaza okulunda n’okulima era nateekawo omusomo ne ntandika okubasomosa,” Kalyango bw’annyonnyola.

Okukakasa ebigambo bye, yagula ettaka, n’atandika okulima. Ebintu bye yakola, byamuyamba okusikiriza bakasitoma era nga kati akola bulungi.

Agamba nti, okukola ebintu ebituufu, ate nga birungi kimuwangaazizza mu mulimu guno era buli kaseera bakasitoma beeyongera.

Okwogera obulungi ne bakasitoma be ne baagulako ebintu, kimuyambye okukola emikwano era n’asigala mu mulimu guno.

 alyango ngabala ebitabo bya bizinensi ye Kalyango ng'abala ebitabo bya bizinensi ye

 

By’afunye

  1. Kalyango agamba nti, afunye ssente ezimubeezaawo ne famire ye.
  2. Agabye emirimu eri abavubuka abaagala okukola era nga tebanyooma mirimu.
  3. Akulaakulanyizza bizinensi ye nga kati ayaluza enkoko ennansi nga bakasitoma be bazigula ne bazirunda era ne bafunamu.

Okusoomoozebwa

Emiwendo gy’ebintu olumu girinnya ne gikosa bbeeyi y’ebintu ku katale ate nga bakasitoma tebaagala kubongeza.