Mukozese bye muyize okukola kkampuni ezammwe

By Herbert Musoke

Abayizi ba yunivasite ya Makerere bakubiriziddwa okukozesa amagezi ge bafunye okutandika kkampuni ezaabwe baleme okunoonya emirimu

Img20171027134233webuse 350x210

Bya Herbert Musoke

Abayizi bakubirizibwa okukola emikago n’abantu ssaako kkampuni ez’amaanyi okusobola okuzimba n’okutwala mu maaso okuyiiya kwabwe mu maaso okubasobozesa okweyimirizaawo nga bamalirizza okusoma.

Lt. Gen. Charles Angina, amyuuka akulira enteekateeka ya Bonnabagaggawale mu ggwanga abawa amagezi ng’abayivu babeereko bye batandikawo nga bino byakuyamba eggwanga okulwanyisa ebbula ly’emirimu n’obwavu.

Wano abayizi b’e Makerere we baayiiyirizza okukola ebisobola okutimbibwa mu mayamba, ofiisi, obulimiro bw’ebimuli awawummulirwa, ku bubaga n’ebirala okuva mu bintu ebitakyakozesebwa ng’amacupa, amasowaani agaatise, emipiira gy’emmotoka n’ebirala.

Edna Namulondo, omuyizi agamba nti batona amacupa nga bakozesa obugoye ng’ebitengi, eza langi n’ebimuli, ebigoogwa n’ebirala by’osobola okukozesa okutona ekintu okukirabisa mu ngeri ey’enjawulo era esikiriza amaaso era kkampuni yaabwe baagiyise Beautiful Creations.

Bano bakozesa gaamu okukwasa bye bakozesa ku ccupa zino olwo ne bazitunda okuva ku 10,000/- okutuuka ku 30,000/-.

Omulimu guno osobola okugukolera awaka kuba tekyetaagisa kapito munene kuba amacupa osobola okugafuna mu mikwano gyo, ebirala ng’obugoye nabyo osobola okubiyiiya olwo n’otandika.

Kkampuni eno erina bammemba mukaaga okuli abawala basatu era nga balina enteekateeka y’okutwala bizinensi eno mu maaso kuba teyeetaaga ssente nnyingi okutandika era nga balina enteekateeka y’okutandika okukola ebintu ebirala ng’okusala amacupa gano okukolamu ggiraasi ez’okunyweramu amazzi n’ebyokunywa ebirala.