Abasuubuzi b'omu Kalagi beeraliikiridde ku kasasiro

By Musasi wa Bukedde

Kasasiro atuuse okulwaza bakasitoma be tuguza ebyokulya ate n'endwadde teziggwa mu baana

Kalagi21webuse 350x210

Bya Madinah Ssebyala

Abatuuze n'abasuubuzi b'omu Kalagi mu ggombolola y'e Kyampisi mu disitulikiti y'e Mukono balaajanidde Gavumenti ebayambe ku kasasiro gwe bagamba nti, abafuukidde ekizibu olw'obutaba na mmotoka emusomba wadde ekifo we bamuyiwa. 

 kifo mu alagi we batundira ebyennyanja  ku luguudo olugenda e ukono Ekifo mu Kalagi we batundira ebyennyanja ku luguudo olugenda e Mukono

 

Abasuubuzi bano n'abatuuze abakulembeddwa Sulaiman Wasswa bagamba nti, ekizibu kya kasasiro kivuddeko endwadde obutaggwa mu baana n’abantu abakulu olwa kasasiro gwe bamansa buli we basanga omuli; embalaza, emyala ne ku mabbali w'oluguudo aleeta ensowera n’ekivundu. Tulina obweraliikirivu nti, bakasitoma baffe naffe tujja kulwala olwa kasasiro ono.

 ulaiman asswa bwafaanana Sulaiman Wasswa bw'afaanana

 

Yayongeddeko nti, mu kiseera kino ekyetaagisa be bakulembeze ba ggombolola okubafunira mmotoka eyoola kasasiro olwo bo abatuuze basasule ssente z’okumusomba n'agamba nti, kino kati ky’ekizibu ekisinga mu kitundu ekimazeeko abawangaalira mu Kalagi emirembe. 

Ayongerako nti, engeri abazimba gye bataagoberera pulaani obuzibu bwa kasasiro buyinza okuvaako amazzi ga taapu okugendamu kazambi ava mu kasasiro ekitadde obulamu bwabwe mu matigga.