Nkolere ki amabwa agantawaanya?

NNINA amabwa mu bukyala munda ne ku ngulu.

NNINA amabwa mu bukyala munda ne ku ngulu. Nnafuna amabwa ag’oku ngulu ne gagenda naye munda gakyalimu n’okumbabuukirira. Nkoze ntya? Nze Joan Nambalirwa, Kawaala.

Mwana wange wagenda wa okufuna obujjanjabi? Kiba kirungi okugenda n’olaba omusawo omukugu ku nsonga eno.

Amabwa mu bitundu by’ekyama kitegeeza bulwadde bwa kikaba. Ate ekirala bw’oba n’obulwadde bw’ekikaba kiba kyangu okufuna siriimu.

E Mulago mu nnamba 12 kuliko kiriniki ejjanjaba endwadde z’ekikaba era abasawo abaliyo bonna bakugu ku nsonga zino. Oba olina omwami kirungi mugende mwenna mu ddwaaliro babakebere.

Nkolere ki amabwa agantawaanya?