Lwaki abawala tebansanyusa?

SSENGA simanyi kizibu kye nnina naye mpulira saagala bawala. Kino kiva ku ki?



SSENGA simanyi kizibu kye nnina naye mpulira saagala bawala. Kino kiva ku ki?  

Kino mwana wange tekirina buzibu bwonna. Waliyo abalenzi abatayagala bawala naye nga kiva ku ndowooza gye balina ku bawala.

Singa obeera n’endowooza nti abawala bonna balina siriimu, baagala ssente oba nti  tebalina mukwano, weesanga nga toyagala bawala.

Wabula ky’olina okukola kwegyamu ndowooza eno singa otuusa ekiseera ng’olina okuwasa oba okuzaala kuba newankubadde abawala gye bali abatalina mpisa era abaagala ssente nga tebali ku bya mukwano naye n’abawala abalungi gye bali bangi.

N’ekirala abalenzi abamu bakyawa abawala kuba baali bafunye obuzibu n’omuwala. Omuwala ayinza okuyisa obubi n’akukyayisa abawala bonna.

Endowooza eno olina okugyegyamu ofune omuntu gw’oyagala ng’otuusiza.

 

Lwaki abawala tebansanyusa?