Omusambwa Namirembe gwe gwavaako erinnya ly'akasozi Namirembe - Rev. Kalimi

KUVA dda, ebyafaayo by’akasozi Namirembe byekuusa ku nsonga z’Omusambwa. Nze omu ku baanoonyereza ku byafaayo by’olusozi Namirembe era nabuuza abantu abakulu nga Bp. Dunstan Nsubuga, Can. Yayiro Bbaale, Can. Danieri Lubwama, Mzee Paulo Mukasa n’abalala abaali bamanyi obulungi ebyafaayo. Era bino b

Bya Rev. John Ssebalugga Kalimi

KUVA dda, ebyafaayo by’akasozi Namirembe byekuusa ku nsonga z’Omusambwa. Nze omu ku baanoonyereza ku byafaayo by’olusozi Namirembe era nabuuza abantu abakulu nga Bp. Dunstan Nsubuga, Can. Yayiro Bbaale, Can. Danieri Lubwama,  Mzee Paulo Mukasa n’abalala abaali bamanyi obulungi ebyafaayo. Era bino bye bitaliiko nfuufu bye nazuula:

Kuva dda ku kasozi Namirembe kwalingako oluzzi olwavangamu amazzi amalungi. Abantu baavanga ebule n’ebweya okusena amazzi ago kuba oluzzi olwo terwasiikuukanga. Kigambibwa nti abajjanga okusena amazzi mu biseera by’omu ttuntu, baasangangako omukazi atudde okumpi n’oluzzi, kyokka bwe baasemberanga ng’omukazi abulawo. Kye baava baguyita omusambwa. Bagattangako nti gwali musambwa gwa mirembe ogutaalemesanga bantu kusena mazzi mu ttuntu ng’enzizi ezimu era omukazi oyo n’oluzzi byatuumibwa erinnya Namirembe. Oluvanyuma ettutumu ly’oluzzi lyaleetera n’akasozi okuyitibwa Namirembe.

Waliwo Kabaka eyayagalako okukuba Olubiri lwe ku kasozi Namirembe ne bamuwabula aleme kusenga ku kasozi akafugibwa omukazi (Namirembe). 

Ekiwendo ky’okutta abasomi n'entalo z’eddiini bwe byaggwa, emirembe ne gikomawo mu Buganda, abaminsane baddamu okwetaaya n’okusomesa eddiini. Olw’okuba abasomi baali tebeeganya kifo kyonna, Ssekabaka  Mwanga teyasanga buzibu kubawa ettunduttundu ly’akasozi Namirembe, ng’akasiimo k’okumuyambako mu kweddiza Obwakabaka obwali butwaliddwa mutoowe. 

Abaminsane baaweebwa bbeetu okukuba amakanda ku kasozi Namirembe basinziire awo okusomesa eddiini. Kigambibwa nti ku ludda lw’ebugwanjuba bw’akasozi Namirembe – kati awali eddwaaliro ly’e Mengo, waalingawo emmengo era abambowa baateranga okunyugunyaako abazzi b’emisango ne bafa. Omwo mwavaamu n’enjogera egamba nti, ‘agwana olubengo bamutwala mmengo’. Ekifo ne kitandika okuyitibwa Mengo.

Abazungu baayagala nnyo akasozi Namirembe olw’obugulumivu bwako obwavangako empewo ennungi ezaavubirizanga ebbugumu era ekifo kino baakifuula entabiro y’okusomesa eddiini. 

Omulabirizi Tucker bwe yatuuka mu Buganda, okuggulawo Obulabirizi bwa Uganda, ekitebe yakikuba Namirembe. Nga wayiseewo ebbanga, omusawo Cook naye yatuuka mu Buganda era ne bakunga abantu okuzimba eddwaaliro okumpi n’akasozi Namirembe awaalinga emmengo – era eddwaaliro eryazimbibwa ne liyitibwa Mengo. 

Mu kusooka waaliwo ekkanisa entonotono eyazimbibwa wansi w’akasozi Namirembe kyokka we baazimba waalingawo olutobazzi. Mu 1891, abaami ba Kabaka beekolamu omulimu okuzimba ekifo ky’enkalakkalira we banaakuhhaaniranga okusinza. Bakozesa emiti n’ettaka okuzimba ekitamutamu ky’ekizimbe era ng’obwaguuga bwakyo bwali tebulabwangako mu Buganda. Kyetaagisa ebikumi n’ebikumi by’empagi okusobola okuwanirira akasolya k’essubi akaatekebwako. Kigambibwa nti, ekkanisa eyo yatuuzanga abantu abakunnukkiriza mu 3,000. Oluvannyuma yasuulibwa kibuyaga mu nkuba. 

EKKANISA EKWATA OMULIRO ENTAKERA:

Abakristaayo nga bakubirizibwa Katikkiro n’abakungu ba Kabaka baasalawo okuzimbawo ekkanisa endala. Ekkanisa eyokusatu ku kasozi Namirembe kyokka nga y’eyookubiri okuzimbibwa ku ntikko y’akasozi Namirembe.  Yali efaananira ddala n’eyali eyidde omuliro kyokka nga yo yatuuzanga abantu 4,000. Kyazuulibwa nti ekkanisa yali eriiriddwa enkuyege ne basalawo emenyebwe. 

Abazungu baawa amagezi nti ekkanisa endala bakozese bbulooka era bwe gwali. Mu 1901 ekkanisa eyookuna yazimbwa na bbulooka  n’eserekebwa na ssubi.

September 23, 1910, ekkanisa yakubwa laddu wakati mu nnamuttikwa w’enkuba, era nayo n’ekwata omuliro n'esaanawo. Omugenzi Paulo Mukasa yali omu ku badduukirize abaayamba okukuhhaanya ebintu by’ekkanisa ebyali biwonyewo.

Kigambibwa era nti wakatikkati awo, oluzzi Namirembe lwakalira. Abawanuuza ne balyoka bagereesa nti,  ekkanisa okukwatanga omuliro  n’oluzzi lw’omusambwa okusenguka ye yali engeri Namirembe gye yalagangamu obutakkiriziganya bwe n’ebyali bigenda mu maaso abasomi okweddizza akasozi ke. 

Baatandika okugereesa nti, omusambwa ogwasenguka ku kasozi gwe gwakomangawo n’obusungu, nga gujjira mu nkuba (jjukira gwabeeranga ku luzzi) ne gukoleeza omuliro ku kkanisa.  

Abasamirira lubaale baalalika nti, Namirembe agendanga kwokya buli kkanisa eneezimbibwanga ku kasozi kano era baagezaako okusendasenda Abazungu bave ku Namirembe.

ABAZUNGU BALEMERA KU KASOZI:

Abazungu baawabula nti, omuliro gwavanga ku kw’ewanika kw’akasozi Namirembe (laddu zeeyunira nnyo ebifo ebiwanvu ennyo). Baawa amagezi g’okukozesa obukugu mu kuzimba ekkanisa eyookutaano era obwannampala ne buweebwa yinginiya Omuzungu eyabawa amagezi nti, ekkanisa eyookutaano esaana ezimbibwe mu bbulooka eserekebwe na mategula. 

Olw'okuba ng’ebikozesebwa ebisinga obungi byali birina kuva bweru, ensimbi ezaali zeetaagibwa zaali nnyingi naye Katikkiro n’abaami ba Kabaka (Chwa) beeyama okuwaayo ensimbi zonna ze baasoloozanga mu busuulu era ne bakunga abantu okwenyigira mu kusombanga ebbumba – okuliggya e Nnyanama ku mutwe – wamu n’okutema emiti ebyakozesebwa mu kubumba bbulooka n’okuzookya. Omulabirizi Tucker naye yakuba omulanga e Bungereza era nabo ne bawaayo okudduukirira omulimu gw’okuzimba ekkanisa.

 SSEKABAKACHWA ATEMA EVVUUNIIKE:

Ssekabaka Chwa ye yatema evvuunike mu 1915 nga batandika okuzimba ate era ye yali omugenyi omukulu ng’ekanisa eggulwawo mu 1919. Ekkanisa eyo ekyayimiridde n’okutuusa kaakano. 

Ekkanisa etudde ku ntikko y’olusozi Namirembe - era kye kyali ekitebe ky’Obulabirizi obwasooka - yatandika okuyitibwanga Lutikko. Oluvanyuma erinnya eryayitibwanga Ekkanisa etude ku ntikko y’olusozi lyafuuka linnya lya buli kkanisa ebeera ku kitebe ky’Obulabirizi. Ekkanisa ne bw'eba teyazazimbibwa ku ntikko y'akasozi, nayo kati eyitibwa Lutikko, wadde nga mu ntandikwa Lutikko kyali tekigendereddwa okuvvuunula kigambo 'kasidulo'.

Olw’okubanga okuwangaala kw’ekkanisa eyookuna kwasaabulula ebyali bigereesebwa nti, nayo teyali yaakuwaangala; obuwangaazi bwayo ke kamu ku bubonero obutuleetera okwesiga amaanyi ga Katonda agataganya mulabe kwegiriisiza ku baana ba Katonda omulamu. 

 

Omusambwa Namirembe gwe gwavaako erinnya ly''akasozi Namirembe - Rev. Kalimi