Olunaku lw'abakyala terutegeeza kweweebuula

KU Ssande abakyala lwe bakuza olunaku lwabwe mu nsi yonna ng'akabonero akalaga obukulu bwe balina.

BYA MADINAH NALWANGA

KU Ssande abakyala lwe bakuza olunaku lwabwe mu nsi yonna ng'akabonero akalaga obukulu bwe balina.

Sheikhat Mastulah Nakanwagi, owa Rama Educational Centre agamba nti kirungi abakyala okusanyukira olunaku luno kuba kiraga amaanyi n’obukulu Allah ge yabawa mu nsi eno.

Okukuza olunaku lw'abakyala tekitegeeza kweweebuula. Abakyala kirungi ne bakola ebintu ebibakuuma nga bakyala bansa basobole okwongera okuweebwa ekitiibwa.

1 Okukola ebibaweesa ekitiibwa. Abakyala Abasiraamu bateekeddwa okwambala engoye empanvu ate nga tezibamiima nga Allah bwe yalagira mu Kulaani. Omukyala bw'ayambala engoye eziraga obwereere bwe, abeera akema abasajja okumwendako.

2 Okutuukiriza obuvunaanyizibwa bw’awaka. Omukyala omufumbo, alina obuvunaanyizibwa bw'alina okutuukiriza ng'okulabirira bba, abaana n’okulaba nga bakulira mu mpisa ennungi ng’ate balina eddiini n’ebirala. Kino omukyala buli lw'akikola abeera azitowa mu maaso ga Allah.

3 Obujama. Obusiraamu butambulira ku buyonjo, omukyala yenna okuweebwa ekitiibwa alina okubeera omuyonjo kuba awatali ekyo abeera tajja kutuukiriza buvunaanyizibwa bwe ekintu ekimufunyisa omusango.

4 Obutatambula. ng'abamuvunaanyizibwako tebamuwadde lukusa. Omukyala yenna teyeefuga kuba mu buto abazadde be bamuvunaanyizibwako ate bw'akula bba y'amubeerako obuvunaanyizibwa.

5 Okwewala eng'ambo. Abakyala abamu balina ekizibu ky’okugeya. Kino nno kibi kuba kibeera kibaweebuula ate era ku lunaku lw’enkomerero, baakuvunaanibwa.

6 Okufumbirwa. Mu Busiraamu omukyala okuweebwa ekitiibwa n’abalibwa ng’ow'omugaso, alina okufumbirwa singa abeera atuuse.

Oyo yenna eyeeyombekera waakuvunaanibwa mu maaso ga Allah.

7 Okufaayo okuyiga eddiini. Omukyala okuyiga eddiini kibeera kikulu nnyo era agiyize abeera azitowa mu maaso ga Allah kuba Omubaka Muhammad S.A.W) yagamba nti bw'osomesa omukazi eddiini obeera osomesezza ggwanga ddamba ekitegeeza nti omukazi avunaanyizibwa okuyigiriza abantu b'omu maka ge naddala abaana eddiini.

Sheikhat Nakanwagi agamba nti, omukyala mutima gwa nsi n’olwekyo alina okwegendereza ku nneeyisa ye y’ensonga lwaki bw'akola ekintu kikola nnyo amawulire okusinga abasajja.

Olunaku lw''abakyala terutegeeza kweweebuula