GOLOLA AWERA

MOSES Golola, kafulu w’ensambaggere mu buvanjuba bwa Afrika aweze nti Omuzungu Andras Nagy, gw’attunka naye mu December, agenda kumukuba amuddugaze ng’enziiziiri.

Bya Sophie Nakalema ne Hamid Kalanzi

MOSES Golola, kafulu w’ensambaggere mu buvanjuba bwa Afrika aweze nti Omuzungu Andras Nagy, gw’attunka naye mu December, agenda kumukuba amuddugaze ng’enziiziiri.

Okuwera kuno yakukoze eggulo ku Hotel Africana n’ategeeza abaamawulire nti mu lulwana luno olw’ensi yonna olunaabaawo nga December 9 mu kifo kye kimu, Omuzungu w’e Hungary tasuubira okufuna ku ssanyu.

“Nakuba Omusudan ne bang’amba nti namulonda ku Arua Park. Omuzungu nja kumukuba addugale bamutwale e Mulago ng’alinga ayagala okuzaala,” Golola ateerya ntama mu kwogera bwe yaweze.

GOLOLA AWERA