Enkuba ebasattizza

ENKUBA efudemba ensangi zino n’eregamya amataba mu bisaawe naddala eky’e Wankulukuku, ewalirizza akakiiko akaddukanya liigi (USL) okuzza emipiira gyonna egyakkaanyizibwa okulagibwa ku ttivvi ya SuperSport e Namboole.

ENKUBA efudemba ensangi zino n’eregamya amataba mu bisaawe naddala eky’e Wankulukuku, ewalirizza akakiiko akaddukanya liigi (USL) okuzza emipiira gyonna egyakkaanyizibwa okulagibwa ku ttivvi ya SuperSport e Namboole.

Emipiira esatu gye gyakasula olw’enkuba e Wankulukuku nga gino kuliko, ogwa URA ne Fire Masters ssaako SC Villa ne UTODA (emirundi ebiri).

Isabirye n’Omuzungu
Leero e Namboole, Villa, etendekebwa Omuzungu Srdjan Zivojnov, ettunka ne kyampiyoni URA mu mupiira ogusuubirwa okuttula akakuku wakati waazo. Sizoni ewedde, abawagizi ba Villa baakuba baddiifiri olwa kye bayita ‘okusaliriza’ bwe baayongeramu eddakiika URA n’ebateeberamu ggoolo ey’ekyenkanyi. Gwagga 1-1.

Ng’oggyeeko kino, abazannyi ba URA omuli Simeon Masaba, Oscar Agaba, Steven Bengo, Farouk Osama, Robert Ssentongo, Brian Bwete, Asuman Alishe, Augustine Nsumba, Henry Kisekka, Sam Mubiru n’abatendesi Isabirye ne Ibrahim Kirya, baasambirako mu Villa.
“Ennaku zino mpagala bateebi kuba bwe buzibu bwaffe. Twagala buwanguzi ku URA tukendeeze ku bubonero bw’etusinga,” Zivojnov bwe yategeezezza eggulo ku Villa Park e Nsambya.

Express egenze Luzira
Omutendesi Sam Ssimbwa atutte Express e Luzira ng’akuutidde abazannyi obutavumbeera nga ku Fire Masters eyabakibira e Wankulukuku ggoolo 2-0.

Enkuba ebasattizza