Ebyuma kata byabye mutabani wa ssentebe ekifuba

HAKIM Musoke, eyawangula omudaali gwa feeza mu mpaka za Afrika ez’Abato e Munyonyo omwaka oguwedde, ebyuma kata bimukanulire mu jjiimu ya Kasubi Physique nga balonda ttiimu y’eggwanga.

HAKIM Musoke, eyawangula omudaali gwa feeza mu mpaka za Afrika ez’Abato e Munyonyo omwaka oguwedde, ebyuma kata bimukanulire mu jjiimu ya Kasubi Physique nga balonda ttiimu y’eggwanga.

Musoke, asoma S4 mu Mengo SS nga mutabani wa Salim Musoke, ssentebe w’ekibiina ekiddukanya omuzannyo guno, yagaanyi okutandikira ku buzito obwa wansi ng’anoonya okukola erinnya nga bw’ali kanyama.

Kkiro 91 zaamulemeredde n’asuulibwa mu ttiimu egenda okwetaba mu za Afrika ezitandika nga March 28 e Kenya.

Ebyuma kata byabye mutabani wa ssentebe ekifuba