Ssemateeka wa FUFA akyuseemu

EKIBIINA ekiddukanya omupiira mu nsi yonna ekya FIFA kyaweerezza abakungu baakyo bataano okuyambako mu kutereeza ssemateeka wa FUFA n’owa USL.

EKIBIINA ekiddukanya omupiira mu nsi yonna ekya FIFA kyaweerezza abakungu baakyo bataano okuyambako mu kutereeza ssemateeka wa FUFA n’owa USL.

Ensonga ezaatuukiddwaako zakwanjulibwa eri ttabamiruka wa FUFA asuubirwa okutuula mu bbanga ttono. Ensonga ttaano ezisinga okuba enkulu mu nkyukakyuka ze zino;

Olukiiko olufuzi:

Olukiiko olufuzi olubaddeko bammemba 21 lwakukendeezebwa lutuuke ku bammemba 13 bokka. Pulezidenti anaabanga n’abamyuka 3 mu kifo 7 be tulina kati. Omu ku bamyuka bano ajja kulondebwanga ttiimu eziri mu kibinja kya babinywera okubakiikirira. Abakyala bajjanga kukiikirirwa omuntu omu ate alondeyo n’abantu abalala 8 okuweza 13.

Obunene bwa ttabamiruka:

Mu kiseera kino, ttabamiruka wa FUFA alimu abakiise 174 naye baakukeendera batuuke ku 86. Mu nkola eno buli ligyoni kw'ezo omunaana ejja kuleeta abakiise 5. 

Buli kiraabu ya super ejja kukiikirirwa omuntu omu (16), Big League abantu 10, liigi za ligyoni abantu 8, ekibiina ky’abasambi, abatendesi, baddiifiri, abakyala n’amasomero buli bamu ku bano baweereza abantu babiri.   

Ennonda y’olukiiko olufuzi:

Anaabanga yeesimbyewo okuvuganya ku bwapulezidenti bwa FUFA, ajja kulangirira gavumenti ye nga tannalondebwa era olukalala lw’amannya gonna 13 nga n'erirye kweriri aluweereze mu kakiiko k’ebyokulonda nga tannatandika kunoonya bululu. Abalonzi bajja kukubanga akalulu ku pulezidenti yekka.

Okufuuka pulezidenti:

Okubeera pulezidenti oteekwa okuba n’obuyigirize obutakka wansi wa S6. Nga toli wansi wa myaka 25 ate nga tosussa myaka 70. Oteekwa okuba ng'obadde mu bukulembeze bw’omupiira mu bifo ebyenjawulo waakiri emyaka 4 ng'okulonda tekunnabaawo. Ateekwa okufuna ebitundu 51 ku 100 ku bululu obuba bukubiddwa.

Okutuuza enkiiko:

Olukiiko olufuzi lunaatuulanga waakiri buli luvannyuma lwa myezi 3 naye singa abakiise 7 ku 13 bakisaba lutuule, pulezidenti aba alina okukikola mu nnaku 21. Singa alemererwa, bammemba baba n’obuyinza okulutuuza era ebiyisiddwa ne bissibwa mu nkola. Ttabamiruka anaatuulanga omulundi gumu mu mwaka.

Ssemateeka wa FUFA akyuseemu