
Bya SILVANO KIBUUKA
OMUDDUSI Stephen Kiprotich ku Lwokutaano yatikkiddwa amayinja asatu n’afuuka ofiisa w’ekitongole ky’amakomera ku ddaala lya ASP nga kati asobola okukulira ekkomera lyonna mu ggwanga.
Mu kiseera kye kimu, bannamawulire abawandiika ag’emizannyo abeegattira mu kibiina kya USPA, baakwasizza Kiprotich ekirabo ky’obuzannyi bwa August.
Kkampuni ya Nile Breweries, abasasulira ekirabo kino, yawadde Kiprotich ceeke ya bukadde 50 ze baagambye nti za sikaala nga baagala addeyo asome. Baagambye nti baagala Kiprotich awummule emisinde nga tali mu mbeera mbi nga bannabyamizannyo abasinga.
Eggulo (Lwamukaaga) Kiprotich lwe yazzeeyo e Kapchorwa gye bamuzaala.