CRANES; Ebisale by'ogwa Zambia biyombya abawagizi

WADDE ng’abawagizi bakyemulugunya olw’ebisale bya tikiti z’okulaba omupiira gwa Cranes ne Zambia e Namboole

Bya HASFAH SSONKO NE HUSSEIN BUKENYA
WADDE ng’abawagizi bakyemulugunya olw’ebisale bya tikiti z’okulaba omupiira gwa Cranes ne Zambia e Namboole, FUFA yeeremye okukendeeza ku ssente zino n’egamba nti zaakusigalayo.

“Tetusuubira kukyusa bisale ebyo kuba twamaze kubyekkaanya okubigereka okusinziira ku mbeera gye tukoleramu n’amaanyi g’omupiira ogugenda okuzanyibwa. Ezo ssente ziba zimala bumazi!” Kitunzi wa FUFA, Rogers Byamukama bwe yannyonnyodde.

Tikiti z’omupiira guno zaakugenda ku katale ku Mmande nga October 1 nga tikiti etandikirwako ya 40,000/- (kirasha), ssaako 75,000/- (VIP) ne 120,000/- (Gold).

MASSA AYINGIDDEWO
Mu ngeri y’emu, ekyoto kya Cranes kyeyongedde okunywera, omuteebi Geoffrey Massa bwe yeegasse ku banne mu kutendekebwa eggulo (Lwakutaano). Massa, eyateeba ggoolo ‘eyayuza’ akatimba nga Cranes ewandulamu Congo Brazzaville mu za Afrika (mu June), yaakassuuka okuva bwe baamulogoosa evviivi mu July.

Massa yeegasse ku Brian Umony ne Musa Mudde nabo abaasubwa ogwa Zambia wiiki bbiri eziyise. Uganda yeetaaga okusinza Zambia ggoolo 2 oba ezisukkawo, okuwandulamu Zambia, erina ekikopo kya Afrika.

BAPULOFEESONO BAJJA DDI?
Omutendesi Bobby Williamson alina abazannyi 22 mu kutendekebwa nga bw’alindirira bapulofeesono abalala abatandika okutuuka nga October 30.
 

CRANES; Ebisale by’ogwa Zambia biyombya abawagizi