Simba eremesezza Okwi okuzannyira Yanga

OMUTEEBI wa Cranes, Emma Okwi ayolekedde okukifuuwa ng’akizz munda oluvannyuma lwa Etoile du Sahel eya Tunisia okusimba ekkuuli n’emulemesa okuzannyira Yanga (Tanzania) ng’egamba nti akyali muzannyi waayo.

Bya HUSSEIN BUKENYA

Beegattiddwaako Simba (nayo eya Tanzania), Okwi mwe yava okugenda e Tunisia ne bawandiikira ekibiina ekifuga omupiira mu Tanzania ekya Tanzania Football Federation (TFF) nga bagigaana okuwa Okwi layisinsi.

Okwi, yava mu Villa okugenda mu Yanga era yali azannyira ku lukusa lwa FIFA oluvannyuma lw’okufuna obutakkaanya ne Etoile du Sahel kyokka emyezi omukaaga gye yalina okumala mu Villa tegyaggwaako.

TFF yasabye ebiwayi byonna bimale okukkaanya balyoke bawe Okwi layisinsi. Benon Njovu omukungu wa Yanga yagambye nti Okwi muzannyi waabwe kyokka ekikaayanya aba Simba ke kakuku akali wakati waabwe kuba balaba ttiimu yaabwe yeenywezezza nnyo sizoni eno.

Simba eremesezza Okwi okuzannyira Yanga