Beetingi: Gavumenti ereese etteeka ekkakali ku bamuzannya

ETTEEKA ekkakali ku beetingi n’ebika bya zzaala ebirala ligguse mu Palamenti. Etteeka lino erituumiddwa, ‘The Lotteries and Gaming Bill 2013, erikyali mu bubage, gavumenti etaddewo omusolo gwa bitundu 20 ku 100 ku lisiiti omuntu yenna gy’asiba. Mu njogera ennyangu, ku buli lisiiti kuteereddwaako om



Bya Ahmed Mukiibi

ETTEEKA ekkakali ku beetingi n’ebika bya zzaala ebirala ligguse mu Palamenti. Etteeka lino erituumiddwa, ‘The Lotteries and Gaming Bill 2013, erikyali mu bubage, gavumenti etaddewo omusolo gwa bitundu 20 ku 100 ku lisiiti omuntu yenna gy’asiba. Mu njogera ennyangu, ku buli lisiiti kuteereddwaako omusolo.

Etteeka lirambika nti omusolo guno gulina  kuggyibwa ku musingo (siteeke) sso si ssente eziwanguddwa era gulina kukung’aanyzibwa abaddukanya kkampuni za beetingi ne bagutwalira gavumenti mu kiseera nga bakebera ebitabo bya bizinensi zaabwe mu kitongole ky’emisolo (URA).

Ebbago ly’etteeka lino lyassibwako omukono gwa minisita w’Ebyensimbi, Maria Kiwanuka nga December 13, 2013 era ligenda kwekenneezebwa Palamenti lyongerwemu oba wabeewo ebiggyibwamu.

Nga bw’eri enkola ya Palamenti,  etteeka lino lyakusooka kuyisibwa mu kakiiko akavunaanyizibwa ku by’ensimbi, abantu ba bulijjo, abakugu, kkampuni n’ebitongole biweebwe omukisa okuwaayo ebirowoozo byazo.

Ebbago lino, gavumenti erireese okussa mu nkola ekyalangirirwa minisita Kiwanuka, ng’asoma bajeti y’omwaka 2013/14 bwe yategeeza nti asuubira obuwumbi 8 mu mwaka guno mu musolo ku beetingi, ebivvulu n’obuzannyo bu ‘ssendabaguzi’.

Omusolo gutegeeza ki?

Omusolo ogw’ebitundu 20 ku 100 gutegeeza nti omuntu bw’asiba 10,000/-, gavumenti esooka n’etoolako 2,000/- ne zigidda mu nsawo, olwo asibye n’abeeranga ataddeyo 8,000/-.

Bano baasangiddwa mu ki kibuga nga basiba emipiira.

Ekyokulabirako, singa osiba omupiira gwa Real Madrid ekulembedde liigi ya Spain, Real Betis esembye mu liigi ya Spain nga ku kuliko ‘odi’ ya 1.1, kitegeeza nti bw’ossa 10,000/-, gavumenti esooka n’ekuggyako 2000/- n’osigaza 8,000/- z’osiba ku ‘odi’ eyo.

Kitegeeza nti Real bw’ewangula, oba olidde 8000/- ke wataze  bakwongeramu 800/- ne zifuuka ze 8,800/- ekitegeeza nti oba ofiiriddwa kuba oba wataddeyo 10,000/-.

Abakugu bagamba nti omusolo guno gwakukosa nnyo ababeetinga kuba emipiira  egitaliiko ssente nnyingi, bajja kugyewala kuba gijja kuba gisala ssente.

Mu tteeka lino, gavumenti yalagidde nti kkampuni za beetingi zonna kizikakatako  okuyunga ebyuma ebikuba lisiiti ku byuma  ebirondoola bizinensi ebya ‘National Electronic Monitoring System’ kitangire okunyaga omusolo.

Amenya etteeka waakusibwa myaka

Ebibonerezo ebikakali ku banaamenya etteeka lino naddala okubba omusolo, okukola bizinensi ya beetingi nga tolina layisinsi, okukkiriza abaana abali wansi w’emyaka 18 okuzannya beetingi n’ebirala biteereddwaawo.

Anaakwatibwa olw’okumenya etteeka lino, waakusasula engassi ya bukadde bubiri oba okusibwa emyaka 4 oba byombi. Etteeka lino, minisita Kiwanuka yategeezezza nti bwe linaaba liyisiddwa, ligenda kusikira amateeka erya; National Lotteries Act erya 1967 n’erya Gaming & Pool Betting erya 1968.

Kiwanuka yagambye nti amateeka gombi amakadde gagenda kusikirwa lino erireeteddwa okulung’amya bizinensi z’ebifo ebizannyirwamu zzaala (Casino),  obululu bwa zzaala (Lottery), beetingi n’obuzannyo obw’okuwangula ssente.

Ebikulu mu tteeka lino:

1Akakiiko k’eggwanga aka National Lotteries & Gaming Board (NLGB) kateereddwaawo okuvunaanyizibwa ku bululu bwa zzaala ne beetingi era kaakulondebwanga minisita w’Ebyensimbi.

2 Akakiiko kano, kaakuyambanga minisita okussa mu nkola, okulondoola n’okutumbula eby’obululu ne beetingi, n’okwekenneenya layisinsi za kkampuni ezaagala okutandikawo beetingi ne zzaala.

3 Etteeka liragira nti akakiiko kano ak’abantu bataano; okuli omuwandisi ow’enkalakkalira owa minisitule ey’ebyensimbi, omuwandiisi ow’enkalakkalira owa minisitule ey’ensonga z’omunda, omuwabuzi omukulu owa gavumenti mu by’amateeka n’abakugu babiri mu bya zzaala ne beetingi, kajja kukola ng’ekisanja kya myaka esatu ekiyinza okuzzibwa obuggya omulundi gumu gwokka.

4 Singa wabaawo okwemulugunya kwonna ku kkampuni ya beetingi, akakiiko kano  gy’olina okwekubira enduulu era kajja kukola okunoonyereza n’okugonjoola enkaayana.

5 Etteeka liwa minisita w’ebyensimbi obuyinza okugaba n’okuggyako layisinsi  ez’okuddukanya ebifo ne bizinensi za beetingi ne zzaala.

6 Layisinsi zigwa mu ttuluba lya mirundi mingi omuli; ez’okuddukanya ebifo omuzannyirwa beetingi, layisinsi ez’ebifo ebyo, layisinsi okubeera kayungirizi wa kkampuni ya beetingi, layisinsi ez’okukola ebyuma ebizannyirwako beetingi, layisinsi ez’okutunda ebikozesebwa mu beetingi, layisinsi ez’okutuusa mu ggwanga, okubunyisa n’ez’okusimba ebyuma bya beetingi ne zzaala n’endala.

7 Mu tteeka lino, minisita aweebwa ennaku 21 okusalawo okuwa oba okugaana okuwa kkampuni yonna layisinsi okuddukanya beetingi oba zzaala.

8 Wabula singa minisita yeesisiggiriza n’agaana okuwa layisinsi mu nnaku 21, ssentebe w’akakiiko ka gavumenti alina obuyinza okusalawo okugaba layinsi oba okugigaana.

9 Layisinsi za beetingi zaakusasulirwanga obukadde 10 buli mwaka era kkampuni eyagagala okugizza obuggya, yaakukikolanga ku buli nkomerero ya mwaka.

10 Etteeka liragira abaddukanya ebifo bya beetingi okuwaayo okusaba okw’okuzizza obuggya ng’ebula emyezi ebiri omwaka guggweeko ekitegeeza nti balina kusabanga  nga olwa October 30 terunnayita.

11 Ssentebe w’akakiiko ka gavumenti aka ‘National Lottery Board’, Manzi Tumubweine yategeezezza nti Layisinzi  z’ebifo bya zzaala ne beetingi zaalinnyisiddwa okuva mu January 2014 okuva ku bukadde 5 okutuuka ku bukadde 10 buli mwaka.

Abasiba emipiira nga beetegereza olubaawo okutimbiddwa enkalala z’empiira gye baagala okusiba.

Ebirina okugobererwa kkampuni za beetingi

Mu buyinza bwa minista  obulala, etteeka limukkiriza okulondoola omutindo, ebyuma bya beetingi gwe birina okuba nagwo. Ebifo bya zzaala n’ebya beetingi, bissiddwaako obukwakkulizo okusobozesa empeereza etuukiridde. Bino bye birina okugobererwa:

1 Ebyuma bya beetingi tebirina kuba kumpi na masomero, malwaliro n’ebifo ebirala ebiyinza okukema abaana abali wansi w’emyaka 18 oba okutaataaganya eddembe ly’abalala.

2 Akakiiko ka gavumenti kaawereddwa obuyinza okukakasa pulaani z’ebifo bya Casino n’okulambika enteekateeka  ey’omunda mu bizimbe ebyo omuzannyira zzaala.

3 Obuzannyo bwa zzaala bwonna bunaasookanga kukakasibwa gavumenti si kumala galeeta buzannyo bupya obutamanyiddwa naddala eri abaddukanya Casino.

4 Singa addukanya ekifo kya zzaala assaawo akazannyo akatakakasiddwa gavumenti, waakusasula engassi ya 1,920,000/- oba okusibwa emyaka ena oba byombi.

5 Ebyuma bya beetingi byonna kkampuni by’erina biteekwa okuwandiisibwa  n’okwekebejjebwa gavumenti.

6 Etteeka liwa akakiiko obuyinza okugaana ebyuma bya beetingi kizuulibwa nti tebituukana na mutindo oba bimenya amateeka.

7 Singa kkampuni ya beetingi esangibwa n’ebyuma ebitatuukana na mutindo, byakuboyebwa nnanyinibyo asibwe emyaka ena oba okuwa engassi ya bukadde bubiri 2 n’emitwalo 40 oba byombi.

8 Akakiiko ka gavumenti kaweereddwa obuvunaanyizibwa okukuuma likodi zonna ez’ebyuma bya beetingi.

9 Bizinensi za beetingi zaakulondoolwa emisana n’ekiro. Buli kyuma ekikozesebwa mu beetingi kyakuyungibwa ku byuma bya gavumenti ebirondoola bizinensi ya beetingi okugoberera buli ebikolebwa. Kijja kuyamba URA okumanya omusolo buli kkampuni gw’erina okusasula.

10 Anaayingiza omwana ali wansi w’emyaka 18 oba okumusendasenda mu beetingi waakuwa engassi ya bukadde 20 n’okusibwa.

11 Anaakwatibwa ng’ajinga lisiiti ya beetingi, waakusibwa myaka ebiri oba okuwa engassi ya bukadde 4.

12 Okuddukanya kkampuni ya beetingi nga tolina layisinsi osibwa emyaka 2 oba okuwa engassi ya mitwalo 96 oba byombi.

Beetingi: Gavumenti ereese etteeka ekkakali ku bamuzannya