Tewali yakuluusanya baddusi - Minisita

Minisita w’Ebyemizannyo, Charles Bakkabulindi agambye nti tewali bukakafu nti omutendesi w’emisinde, Peter Wemale yakuluusanya abaddusi ng’abasaba omukwano.



Bya Norman Katende

Minisita w’Ebyemizannyo, Charles Bakkabulindi agambye nti tewali bukakafu nti omutendesi w’emisinde, Peter Wemale yakuluusanya abaddusi ng’abasaba omukwano.

Yabyogedde ku Lwamukaaga ng’asisinkanye abakulembeze b’e Kapchorwa. Wemale yayimirizibwa ku butendesi bwa ttiimu y’eggwanga okutuusa ng’okunoonyereza ku bigambibwa nti yakuluusanya abazannyi abawala, kuwedde.

Ensisinkano eno, eyabaddemu abakungu ba poliisi, abakulira disitulikiti, ab’ebyekikugu ne bannaddiini, yabadde ku wooteeri ya Noah’s Ark.

Akulira disitulikiti, Sam Cheptoris, yalumirizza poliisi nti ebikkirira Wemale olw’okuba ofiisa waayo.

Abakungu ba poliisi baagambye nti eby’okukuluusanya abawala tebiriiwo wabula Cheptoris n’omuddusi Moses Kipsiro be babissaawo. Baagambye nti bombi baakola sitatimenti ku poliisi ne baagana okuzissaako omukono nga bamanyi nti bye boogera si bituufu.

“Okubuuliliza okusooka kulaga nti tewali mwana gwe baakuluusanya. Tukyanoonyereza naye kirabika obutakkaanya obusinga buva ku kulonda okwaggwa mu kibiina ky’emisinde,” Bakkabulindi we yannyonnyodde.

Twasindika abakugu baffe okubuuliriza era tujja kuwaayo lipoota yaffe mu bwangu nga byonna bye mpulidde tubitaddemu,” Bakkabulindi bwe yagambye.

Minisita era yabadde alaga abatuuze essomero lya Teryet Primary School, erisoose okuzimbibwa  mu kifo eky’ebyekikugu ekyabuddwaamu Kiprotich (Kiprotich National High Altitude Centre) ku kasozi e Teryet mu Kapchorwa. Essomero lino ery’ebizimbe musanvu, lyaweebwayo Gavumenti nga kati lirina abaana 430 n’abasomesa 12.

“Ndowooza kati mulabyeko. Eno pulojekiti Pulezidenti Museveni y’agiwomyemu omukono ate egenda kuleeta abaddusi bonna era ya Uganda yonna. Ffe ng’aba NRM kye twavudde tusalawo y’aba avuganya ku Bwapulezidenti kuba y’asobola era ky’akola mukirabyeko,” Bakkabulindi bwe yabagambye ne baddamu kirindi nti “tujja kumuwagira.”  ebitunde 120 ku kikumi kuba tulabyeko ku kyakola.

Ekifo kye kikugu kigenda kubamu  ekisawe webaddukira, webasambira omupiira newabazanyira rugby. Wajja kubawo ne  webawugira, ekisulo, gym ne hotel eyo mulembe  eyo byobulambuzi.

 

Tewali yakuluusanya baddusi - Minisita