Liigi y'abakazi ewummuddemu

KAWEMPE Muslim yamazeeko oluzannya olusooka nga ye ttiimu yokka etalozezza ku nnaku ya kukubwa mu liigi y'eggwanga ey'omupiira gw'abakazi oluvanyuma lw'okuwuttula Eastern Heroes 4-0 mu mupiira ogwazannyiddwa e Kawempe ku Ssande.

 Bya STEPHEN MAYAMBA                                           

Kawempe 4-0 Eastern Heroes

Buikwe She Red Stars 4-0 Gafford.

UCU 0-1 She MAK St. FC

Ajax 2-1 She Corporates

Alleluya 2-0 Kakira

Wakiso Hill 0-1 Western Utd

KAWEMPE Muslim yamazeeko oluzannya olusooka nga ye ttiimu yokka etalozezza ku nnaku ya kukubwa mu liigi y'eggwanga ey'omupiira gw'abakazi  oluvanyuma lw'okuwuttula Eastern Heroes 4-0 mu mupiira ogwazannyiddwa e Kawempe ku Ssande.  

Sandra Nabweteme kapiteeni wa Kawempe yateebye 'hatrick' (ggoolo satu mu mupiira gumu) omulundi ogw'okusatu mu mipiira etaano okwegasse eya Hasifa Nassuuna ne bayamba  Kawempe okwenywereza ku ntikko y'ekibinja kya Victoria ku bubonero 15 ng'eddirirwa Buikwe (12) eyakubye Gafford 4-0 e Buikwe. Gafford (9) eri mu kyakusatu, Eastern Heroes ne Alleluya benkanya obubonero (3) ate Kakira (1) n'ekwebera.

Mu kibinja kya Elizabeth, Western United okuva e Mbarara obukoowu bw'olugendo yabusibye ku mpagi n'ekakkana ku Wakiso Hill n'egikubira omwayo 1-0 bw'etyo ku bubonero 11 n'ewanulayo She Corporate eyakubiddwa Ajax Ladies 1-0 e Bulenga ku ntikko.

Ajax teyakomye kukuba She Corporates wabula n'okugiyisa n'edda mu ky'okubiri ku bubonero 9 ng'egisinga akabonero kamu.

She Mak St. ne UCU Lady Cardinals baawanyisiganyiza ebifo oluvannyuma lwa She Mak okulumba UCU e Mukono n'egikubirayo 1-0 n'eva mu ky'okutano n'edda mu ky'okuna ku bubonero 8 ate yo UCU n'edda mu ky'okutaano ku bubonero mukaaga. Wakiso Hill etannafunayo kabonero konna yadde okuteebayo  ggoolo yonna mu mipiira etaano y'ekwebedde.

Nabweteme eyawezezza ggoolo 14 y'akulembedde abateebi mu liigi eno eya ttiimu 12 ezayawulwamu ebibinja bibiri nga ttiimu ebbiri ezinaakulembera buli kibinja zaakukwatagana okufunako kyampiyoni anaasitukira mu kikopo n'obukadde busatu.

 

Oluzannya olwokubiri lusuubirwa okutandika mu wiiki eyokubiri eya May.

Liigi y''abakazi ewummuddemu