Magogo akomyewo omukago gwa VEK

PULEZIDENTI wa FUFA, Moses Magogo alwane bwezigingirire azze omukago gwa VEK engulu, kuba gwayambanga FUFA okutambuza obulungi emirimu.

Musasi Waffe

PULEZIDENTI wa FUFA, Moses Magogo alwane bwezigingirire azze omukago gwa VEK engulu, kuba gwayambanga FUFA okutambuza obulungi emirimu.

Omukago guno ogwalimu SC Villa, Express FC ne KCCA FC gwayambanga FUFA okutambuza emirimu omwali okweroboza mu bazannyi ba ttiimu z’eggwanga, bamaneja baazo wamu n’enziru-kanya y’emirimu. Bwe gwasaanawo, kiraabu zosantule zaggwaamu amaanyi kubanga abakungu baazo baali tebakyawaanyisiganya birowoozo.

Abamu bayinza okugamba nti enkolagana eyinza okumalawo okuvuganya mu kiraabu zino ekitali kituufu kuba bwe yaliwo, obukuku bwaliwo. Abakungu ba kiraabu essatu omupiira gwa Uganda kwe gutambulira era baatuulanga ne basala amagezi ku ngeri gye bayinza okutumbula kiraabu zaabwe ne zisigala ku mutindo ogwesiimisa abawagizi.

Ku mulembe gwa Denis Obua, omukago guno gwamuyamba okukuuma abawagizi, era omupiira gwe ogwasembayo (ogwa liigi e Namboole wakati wa Villa ne Police), gwavaamu obukadde 39 ekitakyasoboka ku mulembe guno.

Ku mulembe gwa Lawrence Mulindwa, teyafaayo kuzza kiraabu zino ngulu era obutabanguko bweyongera, okukkakkana nga Villa ne Express ziri bbiri nga kino kyava ku byabufuzi bya kito.Ebyobufuzi bino byava ku Mulindwa, Kavuma Kabenge ne Fred Muwema abaalemwa okukwatagana wadde nga buli omu yalina ky’ayagala ne ky’aluubirira era entalo zino zaakosa kiraabu zino.

Mulindwa bwe yakizuula nti Kabenge ne Muwema bamujeemedde, n’atandika Villa y’abawagizi ne Express ze yateekamu ku nsimbi, liigi ya FUFA esobole okuba n’omuzinzi.

Ku mulembe gwa Moses Magogo, Villa esukkulumye ku KCCA FC ne Express okulaga omutindo ogugiyambye okuzza abawagizi baayo abaali ‘bazaaye’. Kino Express ne KCCA FC bakisobola.

FUFA ya Magogo ky’erina okukola kwe kuyisa amateeka amakakali ku ani alina okufuuka omukungu wa kiraabu kubanga kino kye kiziviiriddeko okusereba. Villa emaze kufuna bakulembeze bamanyi kye bakola n’eryoka edda engulu.

Abawagizi ba SC Villa, Express ne KCC singa baba bakomyewo mu bisaawe FUFA eba tegenda kwonoona nsimbi za kulanga mipiira gya Cranes ng’edda bwe gwali kubanga abawagizi ebbugumu baalijjanga mu kiraabu zaabwe ne balireeta mu Cranes.

 

Magogo akomyewo omukago gwa VEK