URA ne Yanga zirwanira fayinolo ya Mapinduzi Cup

OMUTENDESI wa URA FC, Kefa Kisala agumuizza abawagizi ba ttiimu eno nti babeere bagumu ttiimu ye esobola okuwangula Yanga eya Tanzania ne yeesogga fayinolo ya Mapinduzi Cup eyindira e Zanzibar.

 Omutendesi wa URA, Kefa Kisala

Mu Mapinduzi Cup;

URA 1-0 Jamhur (Zanzibar)

Simba (Tanzania 1-0 JKU (Zanzibar)

Leero ku Semi;

Simba - Mtibwa, 10:15

URA - Yanga (Tanzania), 2:15

OMUTENDESI wa URA FC, Kefa Kisala agumuizza abawagizi ba ttiimu eno nti babeere bagumu ttiimu ye esobola okuwangula Yanga eya Tanzania ne yeesogga fayinolo ya Mapinduzi Cup eyindira e Zanzibar.

Leero (Ssande), URA ettunka ne Yanga kyampiyoni wa Tanzania ku semi era Kisala mugumu nti omutindo abazannyi be gwe baalaze nga bawangula Jamhur ku ‘quarter’ gwe bagenda okwolesa ku Yanga.

URA yakutte kyakubiri mu kibinja A n’obubonero mukaaga. Simba ye yakikulembedde ku bubonero musanvu.