Ezze ekikeerezi bagigaanyi okuzannya

Ezze ekikeerezi bagigaanyi okuzannya

 Ali Mugaga Kasule, hedimansita wa Kibuli SS (ku kkono), Abdallah Ntege omuwandiisi wa UMEA, Kiteezaala ssentebe w'empaka, bwe baabadde mu kutongoza empaka z'omwaka guno ku ssomero e Kibuli. SS.

Lukuli Utd 1-1 Kibuli Utd Sharing Youth FC - African Tigers (Tegwazannyiddwa)

OMUTENDESI wa African Tigers, Ali Kasirye akolimidde abategesi b'empaka za liigi y'ekibinja ekisooka e Makindye, bwe yazze okuttunka ne Sharing Youth FC ne bakamutema ng'obudde bwe buweddeyo.

Mu mateeka ga liigi eno, omupiira gulina okutandika ssaawa 10.30 ez'akawungeezi nga singa ttiimu eyisaamu eddakiika 45 nga tennatuuka, obubonero babugabira aba yatuuseewo amangu.

Ku kisaawe kya Sharing e Nsambya, aba Sharing Youth gye bakyaliza era baatuuse ne bamaliriza n'okwambala wabula nga African Tigers terabikako. Ttiimu yazze ku ssaawa 11:17 ne bakabatema ng'obudde bwe buweddeyo ekyanyiizizza omutendesi Kasirye.