Omutendesi w'ebikonde Dick Katende abadde afuuyisa n'agwa ekigwo n'afiirawo!

BANNABYAMIZANNYO naddala abakubi b’ebikonde bakeeredde mu kiyongobero olw'amawulire g’okufa kw’abadde omutendesi w’ebikonde, Dick Katende.

 Omugenzi Dick Katende abadde omutendesi w'ebikonde (ku kkono) ng'ayambako omuzannyi okwambala gaadi y'okumutwe.(STEPHEN MAYAMBA)

BANNABYAMIZANNYO naddala abakubi b’ebikonde bakeeredde mu kiyongobero olw'amawulire g’okufa kw’abadde omutendesi w’ebikonde, Dick Katende.

Katende omu ku batendesi ababadde basinga obumanyirivu mu ggwanga era eyaliko omutendesi wa ttiimu y’eggwanga ‘The Bombers’ okumala ebbanga eddene afiiridde mu makaage e Naggulu mu kiro ekikeeseza olwaleero (Olwokubiri nga August 2,2016).

Okusinziira ku mukyala we Joyce Birungi, omugenzi azuukuse ku ssaawa 10:30 ez’okumakya okufuluma ebweru okufuuyisa kyokka n'aseerera n'agwo ekigwo era tazzeemu.

Poliisi eyitiddwa bukubirire n'etwala omulambo gwe okwekebejjebwa okuzuula ki ekivuddeko obuzibu.

Mu mizannyo gy’amawanga agali mu luse olumu ne Bungereza egya ‘Commonwealth Games’ egyali mu kibuga Glasgow ekya Scotland, Katende yagaanibwa okubeera ku 'lingi' nga Bannayuganda bazannya olw’obutaba na biwandiiko bya AIBA ebituukana n’omutendera gw’empaka zino era abazannyi Bannayuganda baayambibwako abatendesi okuva e Kenya ne Nigeria.