Aba Cranes basasuddwa ensako gye babadde babanja

ABAZANNYI baakwekwasa kirala singa balemererwa okuwangula Comoros ku Ssande FUFA bw'ekakasizza okubasasula ensako yaabwe yonna gye babadde babanja mu kampeyini eno olwaleero.

 Omutendesi wa Cranes Micho Sredojechevich (ku ddyo) ng'ayogera n'abazannyi mu kutendekebwa okwetegekera omupiira gwa Comoros ku Ssande ogusembayo mu z'okusunsulamu za AFCON 2017. (STEPHEN MAYAMBA)

ABAZANNYI baakwekwasa kirala singa balemererwa okuwangula Comoros ku Ssande FUFA bw'ekakasizza okubasasula ensako yaabwe yonna gye babadde babanja mu kampeyini eno olwaleero.

Ahmed Hussein, omwogezi wa FUFA ategeezako Bukedde nti akawungeezi ka leero oluvannyuma lw’okutendekebwa ku yunivasite ya IUIU e Kabowa FUFA etegekedde Cranes ekijjulo ku wooteeri ya Serene Suites Cranes ttiimu gy’eri mu nkambi kw'egenda okubaweera emitwalo gya ddoola 42,000 mu za Uganda 141,708,000 bonna  awamu (abazannyi n’abatendesi) ze babadde babanja nga zino zizze zisigalira ku mipiira egyenjawulo.

Buli muzannyi ku ttiimu afuna ensako ya ddoola 1,000/- ku buwanguzi mu mupiira ogw'awaka ate ne bafuna  2,000/- ku buwanguzi mu mupiira gw’okubugenyi wabula olw’obukulu bw’obuwanguzi bwa ttiimu bwe yafuna ku mupiira gwa Botswana mu June, baabongeramu e 500 ne babawa 2500 eza ddoola. Ezimu ku zino ze zibadde zibanjibwa.

Bagenda kufuna omutwalo gwa ddoola

Obuwanguzi bwa Cranes bwonna ku Comoros bugenda kuguyisamu okuzannya mu za Africa ez’akamlirizo ezigenda okubeera e Gabon era mu mbeera y’okwagala okuzaamu abazannyi amaanyi okufiirawo n’okwewala ebizze bibaawo ng’eremererwa okuyitamu ku mupiira ogusembayo FUFA abazannyi ebateereddewo ensako ya 10,000 gwa doola (obukadde 33) buli muzannyi singa bawangula.