Uganda ekiikiriddwa omuntu omu mu mpaka z'abaliko obulemu e Brazil

Uganda esindise omuddusi omu yekka mu mizannyo gy’Abalema egya Paralympics egigenda okubumbujjira mu kibuga Rio De Janeiro ekya Brazil okuva nga September 7 okutuuka nga 18.

 Innocent Tumwesigye (ku kkono ) omutendesi agenza n'omuddusi David Emong agenze okukiikirira Uganda mu Olympics z'abalema e Brazil mu Rio Olympics 2016 (ekif:Silvano Kibuuka)

Uganda esindise omuddusi omu yekka mu mizannyo gy’Abalema egya Paralympics egigenda okubumbujjira mu kibuga Rio De Janeiro ekya Brazil okuva nga September 7 okutuuka nga 18.

Omuddusi ono David Emong asiibuddwa ssabawandiisi wa NCS, Nicholas Muramagi e Lugogo ng’akwasiddwa bbendera y’eggwanga n’omutendesi we Innocent Tumwesigye.

Emong agenda kuvuganya mu misinde gya mita 1500 ne 400 wabula ng’omutendesi Tumwesigye ne Emong bombi basuubizza okudda n’omudaali waakiri kubanga ttiimu ya Uganda eyabadde mu Olympics (ez’abalamu) tewali yawanguddeyo mudaali.

Emong yadduka mita 1500 mu Paralympics ezaali e London mu 2012 n’akwata kyakuna mu mita 1500 wabula nga yakoze bulungi mu mizannyo gya All Africa Games e Brazaville omwaka oguwedde nga bwe yakwatidde ebisaanyizo okugenda mu Olympics.

Tumwesigye agambye nti Uganda yandibadde etwala abaddusi bana mu mizannyo gino wabula abalala tebaafuna ssente zibatwala mu gya kusunsulamu egyali mu Morocco omwaka oguwedde.

“Olympics oluggwa ng’abaliko obulemu ku mibiri (abalema) nga nabo bayingirawo mu kifo kyennyini awabadde emizannyo egyo wabula nga gino bagiyita Paralympics. Bavuganya okusinziira ku nkula y’obulema era nga basooka kusengekebwa,” omutendesi Tumwesigye bw’ategeezezza.