Omusuubuzi w'ente awangudde ekyapa ky'ekigwo ggumbya

Omusuubuzi w'ente awangudde ekyapa ky'ekigwo ggumbya

 Ssonko Muhammad ng'awaga oluvannyuma lw'okuwangula empaka z'ekigfwo ggumbya n'aweebwa e kyapa n'akakadde k'ensimbi

Bya VIVIEN NAKITENDE

MUNNA Singo Muhammad Sonko omusuubuzi w'ente n'ebintu ebikozesebwa awaka mu kibuga Mityana,  alaze eryanyi n'amegga banne bonna 10 mu kigwo ggumbya ne yeetikka omusipi gw'omwaka 2016.

Ssonko bakira awaka nga banne bamukuba olube nti obwo obunene tebuyinza kumusobozesa kuwangula wabula olwatuuse mu lingi naabalaga nti amalako, bakira buli gwakwatako amusiba enkalu era nga tamuleka waggulu.

kyagenze okuggwa nga ye muwanguzi nga yamezze Ronald Kasirye owa Busiro gwe yawangulidde ku bubonero 14-11.

Ssonko yayongedde okulaga sitamina bwe yaleese bakazi be bonna abana naabalaga abantu nti okumalako ssi kw akigwo kyokka wabula ne mu maka muka nnyo era amalako.

yawangudde omusipi n'aweeba ekyapa ky'ettaka okuva mu kkampuni ya Kamoga Property Consultans, akakadde k'ensimbi okuva mu kampuni ya Prestige n'ebirabo ebiralala olwo ye owookubiri Ksirye owa Busiro naafuna seeti y'entebe z'omunnyuma n'ebirabo ebiralala era na bonna abatuuse ku luzannya lwa kamalirizo nabo baafunye ebirabo ebyenjawulo okuva mu makampuniagataddemu ssente.