Sserumaga ayogeredde bakama be amafuukuule: 'SC Villa enkonyezza'

KAPITEENI wa SC Villa, Mike Serumaga atabuse ne bakama be n'abalangira okumukonya n'awera obutaddamu kubazannyira.

Mike Sserumaga

KAPITEENI wa SC Villa, Mike Serumaga atabuse ne bakama be n'abalangira okumukonya n'awera obutaddamu kubazannyira.

Sserumaga, yeegatta ku Villa mu makkati ga sizoni ewedde ng'ava mu Lweza, n'akola endagaano ya mwaka gumu ng'eggwaako mwezi guno.

Agamba nti kikafuuwe okwongezaayo endagaano ye ne Villa kuba terina ky'emwongeddeko. "Bwe nnali mu ttiimu abamu ze bayita ennafu, bampitanga ku Cranes ne ndowooza nti bwe naagenda mu ttiimu ennene nga Villa nja kwongera okuba omuganzi kyokka kye nalowooza si kye nfunye.

Wadde mu ttiimu za wano mpagira Villa naye naye sigiddamu," Sserumaga bwe yategeezezza.

Yayongeddeko nti okuva ttiimu bwe yava e Vietnam, bakama be tebaddangamu kumunyega ekiraga nti nabo baamuggya birowoozo.

"Bwe nagaana okugenda ne ttiimu e Vietkyabanyiiza kyokka nga nabategeeza nti nga nnali njagala kuwa ku balala omukisa okugenda kuba nze e Vietnam ng'enzeeyo emirundi emingi, kampe ku balala omukisa," Sserumaga bwe yagambye.

Akulira emirimu mu SC Villa, Ivan Kakembo yategeezezza nti tebalina buzibu ne Sserumaga naye alina okujjukira nti akyali muzannyi waabwe kuba endagaano ye ekyaliko.

Bukya Sserumaga yeegatta ku Villa, atandiseeyo emipiira mibale ng'egisembyeyo esatu tabadde wadde ku bbenci.

Okuzannya egya 'super', Sserumaga yatandikira mu Police mu 2007 kyokka nga yasooka kuyamba KB Lions okuyingira mu kibinja kya babinywera mu 2006.

Yazannyirako Helsingborgs (Sweden), URA, Bunnamwaya (kati eyafuuka Vipers), Rayon Sport (Rwanda), St. George (Ethiopia), Proline, Victoria University, Lweza ne SC Villa.

Ng'akyali mu Victoria University, yatabuka ne Morley Byekwaso eyali omutendesi n'avaayo okugenda mu Lweza sso nga ne bwe yali mu Bunnamwaya yatabuka ne Edward Golola lwa kumukuba katebe.

Mugabi yandigobwa Mu ngeri y'emu, Yasin Mugabi omukwasi wa ggoolo mu Villa, emikisa gy'okusigala mu ttiimu eno mitono oluvannyuma lw'abakungu baayo okulaga nga bwe ba takyamwetaaga.

Mugabi yeegatta ku Villa ku ntandikwa ya sizoni ng'ava mu KCCA ng'akutteyo emipiira mibale.

Yasemba kukwata KCCA bwe yali ewuttula Villa ggoolo 3-1 e Lugogo nga November 1.

Villa eri mu kyakubiri mu liigi n'obubonero 31 emabega wa KCCA ekulembedde ku 32 ng'ekitundu ekyokubiri ekya liigi kiddamu mu January.