Cranes egenze mu nkambi

LEERO, Cranes lw’eyingira enkambi ku wooteeri ya Serene Suites e Mutundwe nga yeetegekera okuzannya ez’Afrika omwezi ogujja e Gabon.

LEERO, Cranes lw’eyingira enkambi ku wooteeri ya Serene Suites e Mutundwe nga yeetegekera okuzannya ez’Afrika omwezi ogujja e Gabon.

Wabula omutendesi Micho Sredojevic ataddewo amateeka amakakali eri abazannyi mw’agaanidde abawagizi okwesembereza enkambi si kulwa nga baggya abazannyi be ku mulamwa.

Okusalawo okutwala ttiimu ku wooteeri ya Serene Suites waasoose kubaawo kusika muguwa nga Micho agamba nti gy’ayagala kuba wazibu okutuukayo abasomola ebyama sso nga FUFA yabadde eyagala bagende ku wooteeri ya Sky e Ntinda etali ya buseere mu kaseera nga FUFA terina ssente.

Micho agamba nti abazannyi bwe babeera e Mutundwe, bassa omulaka ku by’abatendeka ate nga tebasomola byama bya ttiimu ye ekitali nga bwe babeera ku Sky Hotel eri mu kibuga.

Oluvannyuma lw’enjuyi zombi okukkaanya, leero basuubirwa okutandika okutendekebwa nga baakusooka mu jjiimu ku Acacia Mall e Kamwokya gye banaava okugenda e Mutundwe.

Patrick Ntege, maneja wa Cranes yategeezezza nti abazannyi b’awaka bonna basuubirwa okwetaba mu kutendekebwa kuno sso nga n’abamu ku bapulofeesono abali wano nabo baakutendekebwa.

Micho yategeezezza nti, Isaac Isinde, Tony Mawejje, Murushid Juuko, Godfrey Walusimbi, Shafik Batambuze n’abalala weebali.

“Tusazeewo kugenda ku Serene kuba abazannyi baffe beetaaya bulungi,” Ntege bwe yategeezezza. Micho eyakomyewo okuva ku butaka e Serbia gy’abadde mu luwummula, yategeezezza nti, “Ebiseera by’okwogera biweddewo kati ssaawa ya kukola.

Tulina okwemalira mu kukola ennyo okulaba nga tutuuka ku bye twagala nga tutuuse mu mpaka z’Afrika,” Micho bwe yategeezezza.