URA FC etandise bulungi mu Mapinduzi Cup

BAKYAMPIYONI b’empaka za Mapinduzi Cup aba URA FC batandise bulungi kaweefube w’okweddiza ekikopo kino bwe bakubye KVZ FC ggoolo 2-0 mu mupiira gwabwe ogusoose.

 Oscar Agaba (ku ddyo) ng'avuga omupiira mu kutendekebwa kwa URA FC e Gayaza ku mande nga beetegekera omupiira gwa SC Victoria University mu liigi e Namboole ku lwokubiri nga Sept 29, 2015. (STEPHEN MAYAMBA)

KVZ FC 0-2 URA

Enkya ku Lwokubiri January 3

Jang’ombe Boys VS URA FC

BAKYAMPIYONI b’empaka za Mapinduzi Cup aba URA FC batandise bulungi kaweefube w’okweddiza ekikopo kino bwe bakubye KVZ FC ggoolo 2-0 mu mupiira gwabwe ogusoose.

Bokota Kamana ye yateebye ggoolo za URA FC etendekebwa Kefa Kisala obuwanguzi mu mupiira ogwazannyiddwa akawungezi ka Ssande mu mpaka zino ezitegekebwa buli mwaka e Zanzibar.

Ggoolo za Kamana yaziteebye mu ddakiika eya 56 n’ey ‘e 90.

URA FC yaakudda mu nsiike enkya (ku Lwokubiri) nga basamba ne Jang’ombe Boys FC olwo bawummulemu olunaku olulala lumu ate bazzeeko Simba eya Tanzania.

Egy’omukibinja bagikomekkereza na Taifa ya Jang’ombe ku Lwomukaaga.