Vipers SC ereese omutendesi Omuzungu

TTIIMU ya Vipers SC eyingizzaawo omutendesi Omuzungu okugibangula mu bukodyo obwenjawulo

Nnannyini Vipers SC, Lawrence Mulindwa ng'ayanjula omutendesi omuggya, Omuzungu Da Costa Duarte Jorge Miguel . EKIF: STEPHEM MAYAMBA

KAWEEFUBE gwe baliko okufuuka kiraabu esinga amaanyi aba Vipers SC bamukwasizza maanyi.

Wakati mu keeterekerero k’okuggulawo ekisaawe kyabwe ekya St. Mary’s Stadium ku Lwomukaaga bwe banaaba bakyazizza ttiimu ya Platinum Stars okuva e South Africa mu mpaka za CAF Confederations Cup, baleese omutendesi Omuzungu abayambeko ne mu by'ekikugu.

Omuportugal Da Costa Duarte Jorge Miguel (47), yayanjuddwa nnannyini ttiimu eno, Lawrence Mulindwa okutendeka Vipers SC ku ndagaano ya myaka 3.

Da Costa ng’omupiira yagusambako kitono obuvune ne bumuguggyako.

Da Costa eyazannyirako mu ttiimu kirimaanyi omuli FC Porto agenda kuba amyukibwa Richard Wasswa, abadde atendeka Vipers wamu n’abadde omuyambi, we Edward Golola.

Ng’amwanjulira abawagizi, Mulindwa yagambye nti bali mu kwezimba mu bintu eby’enjawulo ng’ekisaawe era nga kibadde kibakakatako n’okwenyweza mu by’ekikugu, kati balina essuubi nti okujja kwa Da Costa kugenda kubayamba kinene okusitula omutindo gwa ttiimu.