Amasomero 35 geeswanta kuvuganya mu za Badminton

Amasomero okuli; Marium High, Kakungulu Memorial wamu n’abazannyi ssekinnoomu okuva mu Aga Khan , Rubaga Girls, Kibuli n’amalala gali mu kwetegekera mpaka za Badminton eza Taibah Schools Badminton tournament ez’omulundi ogw'e 17, ezitandika ku Lwokutaano luno mu Lugogo Indoor Arena.

 Akulira Taihab Schools e Kawempe, Hajat Marium Mugenyi ne Medi Kagga nga bakwasa Gilbert Ofuyuru (ku kkono) okuva mu kibiina kya Uganda Badminton Association ebikopo n'ebintu ebirala ebigenda okweyambisibwa mu mpaka za Taibah Schools Badminton 2017. (ekif:Silvano Kibuuka)

Gano geetegekera kweddiza buwanguzi mu mpaka zino akulira emirimu mu kibiina kya Uganda Badminton Association (UBA) Simon Mugabi z’agambye nti zigenda kwetabwamu bayizi bokka mu masomero ga Pulayimale ne Ssiniya nga zissibwamu ensimbi aba Taibah Schools.

Agambye nti aba Taibah bazitaddemu ensimbi 6,000,000/= okuli eziguze ebikopo, ttena wamu n’okusasulira ekisenge kya Lugogo Indoor Arena.

Mugabi ategeezezza nti empaka za Taibah Schools ze zimu ku ziyambye abazannyi bangi okuyitimuka mu muzannyo guno ng’abazannyi bangi abaziyitiddemu n’abamu bali bweru wa ggwanga kati okuli ne Edwin Ekiring kafulu wa Uganda abeera mu Holland.

Bino abyogeredde mu kutongoza mpaka zino e Kawempe n’agamba nti ze zimu ku zisinga obuganzi kubanga zeetabwamu amasomero mangi.

Bagenda kuvuganyiza wakati  w’emyaka 10, 13 ne 15 abawala n’abalenzi so ng’abali wansi w’emyaka 19 bagenda kuvuganya mu ttiimu n’abazannyi sekinnoomu.

Omukungu mu Taibah Schools, Madina Mugenyi y’akwasizza Simon Mugabi ebigenda okweyambisibwa mu mpaka zino.