Abeemifumbi beebugira za Kampala

Abeemifumbi beebugira za Kampala

 Ssenoga

OMUWANGUZI w’empaka za Mr. Kampala 2016, Andrew Ssenoga aweze okuddamu okumegga banne mu mpaka zino ez'okubeerawo nga May 21, ku Gland Global Hotel e Makerere.

Ssenoga agamba nti akoze ekimala okwetegeka era agenda kuddamu okunywesa banne amazzi nga bwe gwali omwaka oguwedde. “Njagala okuddamu okulaga abasibi b’emifumbi bonna nti nkyali nnantameggwa," Ssenoga bwe yategeezezza, n'agattako nti agenda kukozesa empaka zino okwongera okwetegekera ez’ensi yonna kuba ekirooto kye kya kufuuka pulofeesono n’okuwangulira eggwanga emidaali.

Pulezidenti w’ekibiina ekitwala omuzannyo gw’emifumbi mu Uganda, Twaha Ddungu, agamba nti empaka z’omwaka guno bazisuubira okubeera ez’amaanyi era ez’enjawulo kuba mugenda kwetabwamu abazannyi abakununkiriza mu 80.

“Tusuubira abazannyi okuva mu jjiimu ez’enjawulo okuva mu bitundu nga Teso, Mbarara, Jinja, Kampala n’ebirala, ekigenda okwongera okuvuganya mu bazannyi," Ddungu bw’annyonnyola. Ddungu yagambye nti bagenda kwongera okutumbula omuzannyo guno nga beeyambisa abazannyi abasukkulumye ku bannaabwe, nga Mubarak Kizito omuwanguzi w’emidaali gy’ensi yonna.