Essuubi lya Uganda okugenda e Russia liggweereddewo ddala

Essuubi lya Uganda okugenda e Russia liggweereddewo ddala

Egypt 2-1  Congo Brazzaville

 Uganda 0-0  Ghana

ESSUUBI lya Uganda Cranes okukiika mu World Cup y’e Russia omwaka ogujja lyaggweereddewo ddala ku Ssande, Misiri (Egypt) bwe yakubye Congo Brazzaville ggoolo 2-1.

 

Mohamed Salah ye yateebye ggoolo zombi ezaatutte Misiri mu World Cup gy’ebadde emaze emyaka 27 nga teyeetabaamu. Ggoolo ey’obuwanguzi yagiteebye mu ddakiika esembayo nga yabadde ya peneti. Misiri yawezezza obubonero 12, Uganda 8, Ghana 6 ate Congo Brazzaville 1.

 

Uganda ne bw’ewangula Congo Brazzaville ku bugenyi omwezi ogujja eweza obubonero 11 sso nga Misiri nayo ne bw’ekubwa Ghana ku bugenyi, tekyasobola kuva ku ntikko ya kibinja E. Kati Misiri yeegasse ku Nigeria eyasoose okuyitamu mu z’Afrika bwe yakubye Zambia ggoolo 1-0 ku Lwomukaaga.