Mike Mutebi atabukidde abazannyi ba KCCA abatava ku ndiri-Nkooye okubasasula ez'obwereere

Mike Mutebi atabukidde abazannyi ba KCCA abatava ku ndiri-Nkooye okubasasula ez'obwereere

OMUTENDESI wa KCCA FC, Mike Mutebi alabudde abazannyi abatava ku ndiri nti akooye okubasasula ssente ez’obwereere nga tebazannya. Kiddiridde abazannyi okuli; Saddam Juma, Jackson Nunda ne Hassan Wasswa ‘Dazo’ obuvune okubalemerako kyokka nga baabagula kuyamba ttiimu eno ewangule ebikopo era nga basasulwa omusaala buli mwezi, Mutebi ky’agamba nti tagenda kukigumiikiriza.

Mutebi, yategeezezza nti abazannyi bano baludde n’obuvune ate abamu babusirikira wabula gwe banneekebejja n’asangibwa n’obuvune obwetaaga okulongoosebwa n’agaana, waakugobwa mbagirawo kuba tebalina ssente za kwonoonera ku bazannyi balwadde ng’ate balina kkampuni ya Britam eyabawa yinsuwa y’obulamu bw’abazannyi. Saddam, eyeegatta ku KCCA ng’ava mu Express emyezi mukaaga egiyise, tazannyangayo mupiira gwa liigi gwonna okuggyako egya CAF Confederations Cup bwe baali bakyazizza FUS Rabat n’ogwa Club Africain ku bugenyi.

Sizoni eno, Nunda yazannye Onduparaka ne Maroons gyokka n’addayo ku ndiri kyokka sizoni ewedde yagimalako ali ku buvune okufananako ne Wasswa ‘Dazo’ atazanyangayo mupiira okuva lwe yava mu Express mu 2015Saddam twamugula tukimanyi nti mulwadde kuba abazannyi ba Uganda bangi baba balwadde, tugenda kubakebera tulabe obuvune bwabwe we butuuse tubasindike balongoosebwe. Singa banaakigaana, tujja bagoberawo,” Mutebi bwe yategeezezza ng’ayanukula bannamawulire abaabadde bamubuuza ku buvune bw’abazannyi bano.

SADDAM AYOGEDDE Bukedde bwe yatuukiridde Saddam, yategeezezza nti talina wamuluma era alinze basawo ba ttiimu kumubuulira lw’addamu okuzannya kuba atendekebwa bulungi. “Ne bw’ong’amba nti leero nze ntandika omupiira, nkikola kuba sirina wannuma.

Ekirala bwe nnali nzija mu KCCA abasawo banneekebejja, tebalina bulwadde bwe baazuula ekitegeeza nti ndi mulamu. Kati lwaki bagamba okunnongoosa,” Saddam bwe yategeezezza. Eggulo (Lwamukaaga), KCCA yattunse ne BIDCO e Jinja mu liigi era abazannyi bano baabadde tebasuubirwa kuzannya.