Egya Big League gitojjera

TTIIMU ya Airtel Kitara FC eya Big League mu kibinja kya Rwenzori ezze n’ekiruyi ky’okwesasuza ggoolo 4-0 Nyamityobora FC gye yagiwuttula ku nkomerero ya sizoni eyaggwa (2016/2017) n’ebalemeza mu kibinja.

 Abazanyi ba Airtel Kitara

Bya GERALD KIKULWE

Leero (Lwakuna)mu Big League

Kira UTD FC – Kireka UTD FC, Namugongo

Water FC – Sun City FC, Kyambogo

Ntinda UTD FC – Synergy FC, Kamwokya

Leero (Lwakuna) Airtel Kitara FC ekyazizza Nyamityobora FC bwe bali ku mbiranyi ey’okusiguukulula Kira UTD FC ku ntikko y’ekibinja wabula Nyamityobora ekyakuumye likodi y’obutakubwamu n’obutateebwamu  sizoni eno era ng’ayagala kugisigaza newankubadde Kitara nayo yeewera.

“Nyamityobora yatuyisa bubi sizoni ewedde bwe twabakyalira e Mbarara ne batusinsimula ggoolo 4-0 wabula ku luno twagala kubalaga nti kye baatukola tusobola okukibatuusaako ate twagala n’okusaanyawo likodi yaabwe ey’obutebwamu n’obutawangulwa sizoni eno,” Anthony Ssekitto atendeka Kitara FC bwe yaweze.

Wabula ne Alex Isabirye atendeka Nyamityobora agamba nti eno egenda kuba nga fayinolo kuba tagenda kukkiriza kubasangulizaako ttoomi.

Airtel Kitara eri mu kifo kyakubiri n’obubonero 20 emabega wa Kira United FC abakulembedde n’obubonero 22. Wabula yo Nyamityobora eri mu kyakusatu obubonero 19.

Emipiira emirala egigenda okuzannyibwa

Bumate UTD FC – Kabale Sharp FC, Bundibujjo

Greater Masaka UTD FC – Kansai Plascon FC, Masaka

Airtel Kitara FC – Nyamityobora FC, Hoima

Amuka Bright Stars FC – Agape SS FC, Lira

Paidha Black Angels – Kataka FC, Zombo

Kyetume FC – Kamuli Park, Nakisunga

Lira UTD FC – Doves All Stars FC, Lango

Bukedea TC FC – Busia Fisheries FC, Bukedea