Museveni atadde FUFA ku nninga ku ssente z'ekung'aanya ku miryango: 'Muziteeka wa?'

"Buli ttiimu lw'ebeera n'omupiira omunene mukaaba ensimbi, naye zo ssente ze musolooza ku miryango ziraga wa?" Pulezidenti Museveni bwe yabuuzizza abakungu ba FUFA abaakulembeddwa pulezidenti waayo, Moses Magogo.

Pulezidenti Museveni ng'asiibula abazannyi ba Cranes oluvannyuma lw'okubasisinkana

PULEZIDENTI Yoweri Museveni atadde abakulembeze ba FUFA ku nninga bannyonnyole gye bateeka ssente ze basolooza ku miryango nga ttiimu y'eggwanga (Uganda Cranes) ezannya.

"Buli ttiimu lw'ebeera n'omupiira omunene mukaaba ensimbi, naye zo ssente ze musolooza ku miryango ziraga wa?" Pulezidenti Museveni bwe yabuuzizza abakungu ba FUFA abaakulembeddwa pulezidenti waayo, Moses Magogo.

Okusinziira ku Linda Nabusaayi, munnamawulire wa Pulezidenti, aba FUFA baajulizza NCS (akakiiko akavunaanyizibwa ku mizannyo mu ggwanga) nti ensaasaanya ya ssente zino kagimanyi.

Abakungu ba FUFA, abazannyi ba Cranes, abakulembeze ba ttiimu z’eggwanga ez'okubaka eya She Cranes ne She Pearls (ey'abato) eggulo baakyalidde Pulezidenti ne mukyala we, era nga ye minisita w'Ebyemizannyo, Janet Museveni, mu maka gaabwe e Rwakitura.

Yasoose kubagabula kijjulo, n'oluvannyuma ne bawayaamu ku ngeri ebyemizannyo gye bitambulamu mu ggwanga.

NCS yakulembeddwa ssentebe Bosco Onyik. Mu nsisinkano eno, Pulezidenti yawadde FUFA akawumbi kamu okuddaabiriza bbaasi etambuza abazannyi ba Cranes, eyafuna akabenje ttiimu bwe yali eva e Soroti okumusisinkana mu December 2015.

Kuno yagasseeko n'okubasuubiza bbaasi endala.