Paul Musamali ne Hassan Wasswa bazzeemu okutendekebwa oluvannyuma lw'obuvune

Paul Musamali ne Hassan Wasswa bazzeemu okutendekebwa oluvannyuma lw'obuvune

 Musamali ng'asanyukira ggoolo ne Hassan Wasswa

Bya ISMAIL MULANGWA
 
ABAZANNYI ba KCCA, Paul Musamali ne Hassan Wasswa Dazo bazzeemu okutendekebwa e Lugogo ku kisaawe kya KCCA FC.
 
Wasswa amaze omwaka mulamba n’ekitundu nga talinnya mu kisaawe olw’obuvune sso nga Musamali anoonya kuddamu kulinnyisa mutindo oluvannyuma lwa Mustafa Kiiza okuwamba ennamba ye (nnamba 3).
 
Badru Kaddu avunaanyizibwa ku mutindo gw’abazannyi agamba nti Musamali ne Wasswa balina okukola ennyo okulaba nga batuukana n’omutindo gwe tubaagalamu okuddamu okuzannya kuba bakyali bazito.Y’ensonga lwaki bakola bokka okulinnyisa omutindo gwabwe.