
LEERO MU MPAKA Z'ABAKAZI
Kenyan Haraambe Starlets - Uganda Crested Cranes
Ekisaawe: Kenyatta Stadium
Leero (Lwakusatu) ttiimu y’abakazi ey’omupiira eya Uganda Crested Cranes ekyalidde Haraambe Starlets eya Kenya ku kisaawe kya Kenyatta mu mpaka z’okusunsulamu abaneetaba mu mpaka z'afrika ez'abakazi eza 2018 AWCON e Ghana nga November 17- December 1.
Faridah Bulega omutendesi wa Crested Cranes yatutte abasambi 20 okuli; Ruth Aturo, Daisy Nakaziro, Cissy Nakiguba,Viola Namuddu, Grace Aluka, Gladys Nakit ne Shadia Nankya.
Abalala be yatutte kuliko; Yudaya Nakayenze,Shakirah Mutibwa, Norah Alupo, Damali Matama, Tracy Akirol Jones, Spencer Nakacwa ne Aisia Nakibuuka. Wmau ne; Winnie Babirye, Christine Nambirigge,Hasifa Nasuna (Captain), Shamirah Nalujja, Juliet Nalukenge ne Zainah Namuleme n’abakungu 9.
Bya GERALD KIKULWE