USPA eyiiseemu obukadde 360

BANNAMAWULIRE abawandiika ag’emizannyo bayiiseemu omudidi, Nile Special bw’ebawadde ceeke ya bukadde 360 bazikozese mu myaka ebiri.

 Abamu ku bammemba ba USPA mu lutuula lwa Feb 12 2018.  ku kkono ye pulezidenti wa USPA Sabiiti Muwanga (ekif:Silvano Kibuuka)

Omulamwa gw’ensimbi zino omukulu gwa kutegeka ntujjo ya Nile Special – USPA Gala, bannamawulire kwe bagabira ebirabo eri abazannyi abasinze mu mwaka n’okubawa ekijjulo.

Kitunzi wa Nile Special, Francis Nyende ye yakwasizza pulezidenti wa USPA, Sabiiti Muwanga n’akakiiko ke akafuzi, ceeke eno ku Imperial Royale Hotel eggulo n’abasiima okutumbula emizannyo nga bawandiika ku bagizannya, okubamanyisa ensi n’okubazzaamu amaanyi.

Sabiiti yagambye entujjo ya USPA yaakubaawo nga World Cup ewedde mu July.