'Mukomye okuzannyiza 'abacuba'

VICTORIA College yeesasuzza Waggwa High bulijjo ebalabya ennaku mu z'okubaka bwe yabawangudde (17-16).

 Abayizi ba Victoria College nga bakwasibwa ekikopo.

Baabadde ku fayinolo y'empaka omwasunsuliddwa amasomero aganaakiikirira disitulikiti y'e Kalungu mu za ligyoni.

Amasomero 16 ge gaazeetabyemu ku St. Charles Lwanga SS Kasasa.

Victoria, ku semi yawangudde Crested High ate Waggwa n'ekuba Kabukunge Moslem.

Ate mu volleyball, Bukulula Girls yatutte eky'abawala bwe yakubye Kabukunge Moslem seeti (2-0).

Waggwa High yeenunulidde mu ky'abalenzi bwe yakubye St. Stephen College Bbajja ku seeti (2-0).

Abagenyi abakulu baabadde Phildah Nabirye, akulira emirimu e Kalungu, n'abadde omumyuka w'omubaka wa Gavumenti, Hajati Sarah Nnanyanzi.

Akulira emizannyo mu Kalungu, Huzairu Ssebyala ategeezezza nti omulundi guno baataddemu amaanyi okulaba nga disitulikiti etuuka ku buwanguzi bw'eggwanga.

Ye akulira ebyenjigiriza mu disitulikiti, David Bbaale Mukasa yasabye amasomero okukomya okuzannyisa 'abacuba' (abatali bayizi) kuba bakotoggera ebitone by'abakyasoma.