Nigeria bw'ekubwa esiibula

NIGERIA erina okuwangula Iceland leero (Lwakutaano) mu gw’ekibinja D okwewala okugoberera Misiri ne Morocco, ttiimu za Afrika ezaasoose okuwanduka mu World Cup.

Lwakutaano mu World Cup;

Nigeria - Iceland, 12:00

Mu gwasooka, Nigeria yakubwa Croatia ggoolo 2-0 ekitegeeza nti bw’etewangula Iceland, yaakuwanduka.

Iceland, ttiimu nzibu nnyo era mu mupiira ogwaggulawo, yabuzaako Argentina ya Lionel Messi obwekyusizo okukkakkana nga balemaganye ggoolo 1-1.

Kino kitadde Nigeria mu kaseera akazibu okugolola ensobi ze yakola ku Croatia sikulwa nga bagikuba ng’ezizzeemu.

Iceland nayo obuwanguzi obwetaaga okutangaaza emikisa gyayo egiva mu kibinja D era egamba nti olaba yasobola okukkakkanya Argentina ejjuddemu bakafulu, olwo ate Nigeria!

Wadde ng’eno ye World Cup ya Iceland esoose mu byafaayo, omutendesi waabwe Heimir Hallgrimsson, agamba nti tebalina bwe bajja kunnyonnyola bawagizi singa banaakoma mu kibinja era bagenda kufiira ku Nigeria bafune wiini.

Wabula ne Gernot Rohr, atendeka Nigeria agamba nti notisi ezikuba Iceland yaziwadde dda abazannyi be era alinze ssaawa yokka.