Brazil eneewona Mexico mu World Cup?

NG’ENSIIKE ya Brazil ne Mexico ey’oluzannya lwa ttiimu 16 mu World Cup ebulako essaawa mbale etuuke, Mexico erumirizza Neymar okwesuulanga ng’ayagala ddiifiri agabire ttiimu ye peneti.

Leero mu World Cup; Brazil - Mexico, 11:00 Belgium - Japan, 3:00

Neymar, Brazil gw’etunuulidde okugiyisaawo leero yeesogge ‘quarter’ n’okubawangulira ekikopo ky’empaka zino eky’omulundi ogwomukaaga.

Brazil yaakawangula World Cup emirundi mukaaga era omutendesi Tite ayagala kutwala kyamusanvu.

Wabula omumyuka wa kapiteeni wa Mexico, Andres Guardado asabye ddiifiri agenda okulamula omupiira gwabwe leero abayambe yeetegereze Neymar kuba bamweeraliikiridde nti ajja kwesuula ng’ayagala okufuna peneti.

Bino Guardado yabyogedde mu lukiiko lwa bannamawulire olukulembera omupiira n’agamba nti omupiira bwe gubeeramu abazannyi abaagala okwesuula basaasirwe baddiifiri n’abawagizi, gujja kuba gufa.

Yanokoddeyo, omupiira gwa Costa Rica, Neymar mwe yeesuulira mu ntabwe ng’ayagala bafune peneti wadde nga kumpi tewaali yamukoonako.

“Si mulimu gwaffe (abazannyi) okulaba abazannyi abeesuula naye tulina obwesige mu baddiifiri nadala abo abali ku ttivvi nti omupiira gwaffe bagenda kugwetegereza nnyo,” Guardado bwe yagambye.

Mexico, tewangulanga ku kikopo kino kyokka yakozeewo akatiisa bwe yawangudde bakyampiyoni b’ensi yonna aba Girimaani gye buvuddeko nga kati obwanga ebwolekezza Brazil abakyasinze okukiwangula emirundi emingi era balina essuubi nti bagenda kukituukiriza.

MEXICO ENEEWONA BRAZIL?;

Wadde nga banaaba bakuumye Neymar ne bamubuza omupiira, wakyaliwo ekibuuzo abawagizi b’omupiira kye beebuuza. Mexico eneemalako ne Brazil? Mu mipiira egyakazannyibwa, Neymar si ye muzannyi abadde asinga okutiibwa.

Bwe weetegereza emipiira gyabwe, Coutinho abadde wa bulabe nnyo n’okusinga Neymar era bwe banaamubuusa amaaso, ne balemera ku Neymar, bandikifuuwa nga bakizza munda.

Coutinho ateebye oba okukola asisiti mu mipiira esatu gye yaakazannya mu mpaka zino.

Yateeba nga balemagana ne Switzerland (1-1), n’ateeba eyakutula Costa Rica nga bagiwangula (2-0) sso nga ne mu gwa Serbia, yakoledde Paulinho asisiti nga bagiwangula 2-0.

Kino kimufuula omuzannyi ow’obulabe n’okusinga Neymar eyaakateeba ggoolo 1 mu mpaka zino.

BRAZIL YEESIZE BYAFAAYO;

Mexico tekubanga ku Brazil mu World Cup, ekiwadde abawagizi ba Brazil essuubi wabula, Mexico erina essuubi nti olaba baakubye Girimaani nayo gye babadde batakubangako mu mpaka zino, ne Brazil egenda kuluguwamu.

Neymar yategeezezza nti ali mu mbeera nnungi okwang’anga ttiimu yonna era alinze ssaawa bubeefuke ne Mexico kuba baagala kwesogga ‘quarter’.